Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.
80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
2 (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
ojje otulokole.
3 (C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
otutunuulize amaaso ag’ekisa,
otulokole.
4 Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
5 (D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
6 (E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
n’abalabe baffe ne batuduulira.
7 Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulokolebwe.
8 (F)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
9 Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (G)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
12 (H)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (I)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (J)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15 Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
era ggwe weerondera omwana wo.
16 (K)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
77 (A)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2 (B)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
3 (C)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4 Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5 (D)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
ne nzijukira emyaka egyayita.
6 Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
7 (E)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
naataddayo kutulaga kisa kye?
8 (F)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
9 (G)Katonda yeerabidde ekisa kye?
Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
10 (H)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (I)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (J)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (K)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16 (L)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (M)Ebire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (N)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (O)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20 (P)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
Zabbuli ya Asafu.
79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
ne kifuuka entuumo.
2 (B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
3 (C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
okwetooloola Yerusaalemi,
so nga abafudde tewali muntu abaziika.
4 (D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 (E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
6 (F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
obutakoowoola linnya lyo.
7 Kubanga bazikirizza Yakobo,
ne basaanyaawo ensi ye.
8 (G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
tukusaba oyanguwe okutusaasira
kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
9 (H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
okozese omukono gwo ogw’amaanyi
owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.
Ekire Waggulu w’Eweema
15 (A)Ku lunaku Weema ya Mukama ey’Endagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ng’omuliro. 16 Bwe kityo bwe kyabeeranga; ekire kyagibikkanga emisana naye ekiro ne kifaanana ng’omuliro. 17 (B)Era ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, olwo abaana ba Isirayiri ne basitula mu lugendo lwabwe; era awo ekire ekyo we kyayimiriranga, nga n’abaana ba Isirayiri we basiisira. 18 Mukama bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; Mukama bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe. 19 Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya Mukama Katonda ne batasitula kutambula. 20 Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyabanga. 21 Oluusi ekire kyabeerangawo okuva akawungeezi okutuusa mu makya; naye ekire bwe kyaggyibwangawo mu makya, ng’olwo basitula okutambula; oba bwe kyasigalangawo olunaku n’ekiro kyonna oluvannyuma ne kiggyibwawo, ng’olwo basitula okutambula. 22 Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ng’olwo basitula okutambula. 23 Mukama bwe yabalagiranga okusigala, nga basigala mu lusiisira lwabwe nga bawummudde, ate Mukama bwe yabalagiranga okutambula, nga basitula okutambula. Baagonderanga ekiragiro kya Mukama nga bwe yalagira Musa.
29 (A)Awo Musa n’agamba mukoddomi we Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani nti, “Tusitula okutambula okugenda mu kifo Mukama kye yatugamba nti, ‘Ndikibawa.’ Kale nno, jjangu tugende ffenna tulikuyisa bulungi, kubanga Mukama yasuubiza Isirayiri ebintu ebirungi.”
30 (B)Naye n’addamu nti, “Nedda, sijja kugenda nammwe, nzirayo mu nsi ye waffe era mu bantu bange.”
31 (C)Naye Musa n’amugamba nti, “Nkwegayiridde totuleka. Ggwe omanyi obulungi eddungu gye tusaanye okukuba olusiisira lwaffe, ggwe ojja okubeera amaaso gaffe. 32 (D)Singa ojja ne tugenda ffenna, tunaagabaniranga wamu buli kirungi kyonna Mukama ky’anaatuwanga.”
Essanduuko ey’Endagaano, n’Ekire Ekikulemberamu
33 (E)Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. 34 (F)Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
35 (G)Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,
“Golokoka, Ayi Mukama!
Abalabe bo basaasaane;
amaggye agakulwanyisa gakudduke.”
36 (H)Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,
“Komawo, Ayi Mukama,
eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri.”
1 (A)Nze Pawulo, omuddu[a] wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda, 2 (B)gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, 3 (C)ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri, 4 eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe. 5 (D)Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye. 6 (E)Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo.
7 (F)Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu.[b]
Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.
Pawulo Ayagala Okukyala mu Ruumi
8 (G)Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna. 9 (H)Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo, 10 (I)nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bw’anaayagala.
11 (J)Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero, 12 kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina. 13 (K)Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.
14 (L)Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani n’abatali Bayonaani, n’eri ab’amagezi n’eri abasirusiru, 15 (M)era nammwe ab’e Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri.
Omusimbu Awonyezebwa
14 Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti, 15 (A)“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi. 16 Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”
17 Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.” 18 Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.
19 Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”
20 (B)Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa. 21 Naye kyokka dayimooni ow’engeri eno tagobeka awatali kusaba na kusiiba.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.