Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Zabbuli ya Dawudi.
29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3 (C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (B)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
84 (A)Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
2 (B)Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 (C)Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
5 (D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6 (E)Bayita mu kiwonvu Baka,
ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
7 (F)Bagenda beeyongera amaanyi,
okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9 (G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.
Okwawulibwa kwa Alooni ne Batabani be
8 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 (A)“Leeta Alooni ne batabani be, n’ebyambalo, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, ne seddume y’ente ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume bbiri, n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; 3 (B)okuŋŋaanyize abantu bonna ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.” 4 Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira; abantu ne bakuŋŋaanira mu kibiina kinene ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
5 Awo Musa n’agamba ekibiina nti, “Kino Mukama Katonda ky’atulagidde okukola.” 6 (C)Bw’atyo Musa n’aleeta Alooni ne batabani be n’abanaaza n’amazzi. 7 (D)N’ayambaza Alooni ekkooti, n’amusiba olwesibyo, n’amwambaza omunagiro, n’amwambaza n’ekyambalo ekya efodi, n’amusibya olwesibyo lwa efodi olwalukibwa n’amagezi amangi, n’amunyweza. 8 (E)N’amuteekako ekyomukifuba, era mu kyomukifuba n’ateekamu Ulimu ne Sumimu. 9 (F)N’amusiba ekitambaala ku mutwe, ne mu maaso ku kitambaala n’assaako ekipande ekya zaabu, nga ye ngule entukuvu, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
10 (G)Awo Musa n’addira amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula, n’agakozesa okwawula Weema ya Mukama, ne byonna ebibeeramu nabyo n’abyawula. 11 (H)N’amansira agamu ku mafuta ku kyoto emirundi musanvu, n’ayawula ekyoto ne byonna ebikozesebwako, n’ebbensani ne mw’etuula, okubitukuza. 12 (I)N’afuka agamu ku mafuta ag’okwawula ku mutwe gwa Alooni, n’amwawula, okumutukuza. 13 Awo Musa n’aleeta batabani ba Alooni n’abambaza amakooti, n’abasiba eneesibyo, n’abambaza enkuufiira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Ennaku ez’Okwawulibwa
30 (A)Awo Musa n’addira ku mafuta ag’okwawula ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n’amansira ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be awamu ne ku byambalo byabwe. Bw’atyo n’atukuza Alooni n’ebyambalo bye awamu ne batabani be n’ebyambalo byabwe.
31 Musa n’agamba Alooni ne batabani be nti, “Ennyama mugifumbire awo ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, era awo we muba mugiriira awamu n’emigaati egiri mu kibbo omuli ebiweebwayo olw’okwawulibwa, nga bwe nabalagira nga ŋŋamba nti, ‘Alooni ne batabani be baligirya.’ 32 Ebifisseewo ku nnyama ne ku migaati mujja kubyokya mu muliro. 33 Era temufulumanga okuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okumala ennaku musanvu, okutuusa ng’ennaku zammwe ez’okwawulibwa zituukiridde, kubanga okubaawula kugenda kumala ennaku musanvu. 34 (B)Mukama Katonda alagidde nti nga bwe kikoleddwa leero bwe kinaakolebwanga bwe kityo okubatangiririra. 35 (C)Mujja kubeera ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emisana n’ekiro okumala ennaku musanvu, nga mukola ebyo Mukama by’abalagidde, si kulwa nga mufa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.” 36 Bwe batyo Alooni ne batabani be ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira ng’abiyisa mu Musa.
Katonda akangavvula abaana be
12 (A)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 2 (B)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. 3 (C)Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima. 4 (D)Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! 5 Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,
“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,
so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
6 (E)Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,
Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”
7 (F)Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 8 (G)Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.
9 (H)Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 10 (I)Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.
11 (J)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu. 12 (K)Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira, 13 (L)era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
Okulabulwa obutagaana Katonda
14 (M)Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.
16 (A)Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,
18 (B)“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.
Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.
Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,
n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,
n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
19 (C)n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”
20 (D)N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21 N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”
22 (E)Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23 (F)Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”
24 (G)Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe! 25 (H)Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna. 26 (I)Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni. 27 (J)Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge[a] bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”
28 Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo, 29 (K)ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi. 30 (L)Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.