Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 25

Zabbuli ya Dawudi.

25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
    gye ndeeta okusaba kwange.

(B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
(C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
    naye ab’enkwe baliswazibwa.

(D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
    ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
    kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
    era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
(E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
    kubanga byava dda.
(F)Tojjukira bibi byange
    n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
    ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

(G)Mukama mulungi, era wa mazima,
    noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
(H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
    n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
    eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
    onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
    Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
    era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
    anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
    kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
    kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
    mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
    onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
    n’okunkyawa kwe bankyawamu!

20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
    tondekanga mu buswavu,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
    essubi lyange liri mu ggwe.

22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
    omuwonye emitawaana gye gyonna.

Zabbuli 9

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
    nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
(B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
    Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Abalabe bange bazzeeyo emabega,
    beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
(C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
    era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
(D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
    erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
(E)Abalabe obamaliddewo ddala,
    n’ebibuga byabwe obizikirizza,
    era tewali aliddayo kubijjukira.

(F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
    era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
(G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
    era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
(H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
    era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
    kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
    mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
    era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
    onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
    mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
    era njagulizenga mu bulokozi bwo.

15 (N)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
    era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
    Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (O)Ababi balisuulibwa emagombe;
    ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (P)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
    era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
    leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (Q)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
    amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

Zabbuli 15

Zabbuli ya Dawudi.

15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
    Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

(B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
    akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
    (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
    so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
(D)Anyooma ababi,
    naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
    ne bwe kiba nga kimulumya.
(E)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Okuva 18:13-27

Okulonda Abalamuzi

13 Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi. 14 Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?” 15 (A)Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala. 16 (B)Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”

17 Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi. 18 (C)Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu. 19 (D)Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe. 20 (E)Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola. 21 (F)Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi. 22 (G)Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako. 23 Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”

24 Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira. 25 (H)Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi. 26 (I)Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.

27 (J)Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.

1 Peetero 5

Katonda Talemererwa

(A)Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. (B)Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. (C)Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. (D)Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.

(E)Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga

“Katonda akyawa ab’amalala
    naye abawombeefu abawa omukisa.”

(F)Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse. (G)Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.

(H)Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. (I)Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.

10 (J)Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza. 11 (K)Ekitiibwa n’amaanyi bibeerenga gy’ali emirembe n’emirembe. Amiina.

12 (L)Ebbaluwa eno nzija kugikwasa Sirwano[a], gwe mmanyi nga waaluganda mwesigwa ddala, agibaleetere. Nsuubira nga mbazizzaamu amaanyi mu bbaluwa eno, era nga mbalaze engeri Katonda gy’agabamu ekisa kye ekingi. Ebyo bye mbategeezezza bibayambe okunywerera mu kwagala kwe.

13 (M)Balonde bannammwe mu kkanisa y’e Babulooni, babalamusizza. Ne mutabani wange Makko naye abalamusizza.

14 Mulamusagane n’okwagala okw’Ekikristaayo.

Emirembe gibeerenga mu mmwe mwenna abali mu Kristo.

Matayo 1:1-17

Ekitabo ky’Olulyo lwa Yesu Kristo

(A)Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu:

(B)Ibulayimu yazaala Isaaka,

Isaaka n’azaala Yakobo,

Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be.

(C)Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,

Pereezi n’azaala Kezirooni,

Kezirooni n’azaala Laamu.

Laamu yazaala Aminadaabu,

Aminadaabu n’azaala Nasoni,

Nasoni n’azaala Salumooni.

Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,

Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.

Obedi n’azaala Yese.

(D)Yese yazaala Kabaka Dawudi.

Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya.

Sulemaani yazaala Lekobowaamu,

Lekobowaamu n’azaala Abiya,

Abiya n’azaala Asa.

Asa n’azaala Yekosafaati,

Yekosafaati n’azaala Yolaamu,

Yolaamu n’azaala Uzziya.

Uzziya n’azaala Yosamu,

Yosamu n’azaala Akazi,

Akazi n’azaala Keezeekiya.

10 (E)Keezeekiya n’azaala Manaase,

Manaase n’azaala Amosi,

Amosi n’azaala Yosiya.

11 (F)Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni.

12 (G)Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:

Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,

Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi.

13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,

Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,

Eriyakimu n’azaala Azoli.

14 Azoli n’azaala Zadooki,

Zadooki n’azaala Akimu,

Akimu n’azaala Eriwuudi.

15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,

Eriyazaali n’azaala Mataani,

Mataani n’azaala Yakobo.

16 (H)Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

17 Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena.

Matayo 3:1-6

Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama

(A)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, (B)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (C)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,

“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
    muluŋŋamye amakubo ge!’ ”

(D)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.