Book of Common Prayer
136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 (C)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 (D)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 (E)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 (F)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 (G)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 (H)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (I)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (J)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 (K)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (L)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (M)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 (N)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 (O)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (P)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (Q)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (R)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 (S)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (T)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (U)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Kale Isirayiri ayogere nti,
“Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
3 N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4 Abo abatya Mukama boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
5 (C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
6 (D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
Abantu bayinza kunkolako ki?
7 (E)Mukama ali nange, ye anyamba.
Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.
8 (F)Kirungi okwesiga Mukama
okusinga okwesiga omuntu.
9 (G)Kirungi okuddukira eri Mukama
okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.
15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.
22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.
28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Okutukuza Ebibereberye
13 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2 (A)“Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”
Ebibereberye
11 “Mukama ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa, 12 (A)Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama. 13 (B)Buli kalogoyi[a] akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.
14 (C)“Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi. 15 (D)Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’ 16 (E)Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”
51 (A)Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 52 (B)mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 53 (C)Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. 54 (D)Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”
55 (E)“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”
56 (F)Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 (G)Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58 (H)Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
Okuzuukira kwa Mukama Waffe
24 (A)Awo ku lunaku Lwassande[a], lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana. 2 Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali. 3 (B)Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu. 4 (C)Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu. 5 Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? 6 (D)Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, 7 (E)‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ” 8 (F)Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.
9 Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo: 10 (G)Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo. 11 (H)Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza. 12 (I)Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.