Book of Common Prayer
97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
n’embalama eziri ewala zijaguze.
2 (B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3 (C)Omuliro gumukulembera
ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4 (D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
ensi n’ekulaba n’ekankana.
5 (E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 (F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7 (G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8 (H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9 (I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
akuuma obulamu bw’abamwesiga,
n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.
99 (A)Mukama afuga,
amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
ensi ekankane.
2 (B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
agulumizibwa mu mawanga gonna.
3 (C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
Mukama mutukuvu.
4 (D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
era bituufu.
5 (E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
Mukama mutukuvu.
6 (F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
n’abaanukula.
7 (G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8 (H)Ayi Mukama Katonda waffe,
wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.
115 (A)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2 (B)Lwaki amawanga gabuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
3 (C)Katonda waffe ali mu ggulu;
akola buli ky’ayagala.
4 (D)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 (E)Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8 abakozi ababikola,
n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9 Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (F)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (G)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
Mukama anaabawanga omukisa.
14 (H)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
mmwe n’abaana bammwe.
15 (I)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
abawe omukisa.
16 (J)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (K)Abafu tebatendereza Mukama,
wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (L)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama!
40 (A)Emyaka abaana ba Isirayiri gye baamala mu Misiri gyawera ebikumi bina mu amakumi asatu. 41 (B)Ku lunaku olwasembayo olwaweza emyaka ebikumi ebina mu asatu, eggye lya Mukama eryo lyonna kwe lyasitulira ne liva mu nsi y’e Misiri. 42 (C)Mukama yali bulindaala ekiro ky’olunaku olwo, n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri; noolwekyo abaana ba Isirayiri banajjukiranga Mukama ekiro ky’olunaku olwo emirembe gyabwe gyonna.
Ebiragiro by’Embaga ey’Okuyitako
43 (D)Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Bino by’ebiragiro by’Okuyitako:
“Omunaggwanga takkirizibwa kugiryako. 44 (E)Omuddu aguliddwa n’ensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa; 45 (F)naye omugenyi omugwira, n’omupakasi akola awaka, tebakkirizibwa kugiryako.
46 (G)“Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo n’erimu. 47 Abantu bonna aba Isirayiri banaakolanga omukolo guno.
48 (H)“Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako. 49 (I)Etteeka lye limu lye linaakwatibwanga omuzaaliranwa n’Omunnaggwanga abeera mu mmwe.”
50 Bwe batyo abaana ba Isirayiri bonna ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni; bwe batyo bonna bwe baakola. 51 (J)Awo ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’e Misiri nga bagendera mu bibinja byabwe.
29 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, abo ababatizibwa ku lw’abafu balikola batya? Era kale lwaki babatizibwa ku lwabwe? 30 (A)Era ffe lwaki tuli mu kabi buli kaseera? 31 (B)Abooluganda, olw’okwenyumiriza kwe munninamu, era kwe nnina mu Kristo Yesu Mukama waffe, nkakasa nti nfa buli lunaku. 32 (C)Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,
“Kale tulye tunywe
kubanga enkya tuli ba kufa.”
33 Temulimbibwalimbibwanga, kubanga “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” 34 Mweddemu, mutambulirenga mu butuukirivu mulekeraawo okukola ebibi, kubanga abamu mu mmwe tebamanyi Katonda. Kino nkyogera kubakwasa nsonyi.
Okuzuukira kw’Omubiri
35 (D)Naye omuntu ayinza okubuuza nti, “Abafu bazuukizibwa batya?” Era nti, mubiri gwa ngeri ki gwe bajja nagwo? 36 (E)Musirusiru ggwe! Ensigo gy’osiga temeruka nga tennafa. 37 Era ensigo eyo gy’osiga eba mpeke buweke; so si ekirivaamu oba ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala. 38 (F)Naye Katonda agiwa omubiri nga bw’ayagala, era buli ngeri ya nsigo agiwa omubiri gwayo. 39 Kubanga emibiri gyonna tegiba gya ngeri emu. Waliwo omubiri ogw’abantu, waliwo ogw’ensolo, waliwo ogw’ennyonyi, era waliwo n’ogw’ebyennyanja. 40 Noolwekyo waliwo emibiri egy’omu ggulu, n’emibiri egy’omu nsi. Naye ekitiibwa ky’emibiri egy’omu ggulu kirala, era n’eky’egy’omu nsi kirala. 41 Waliwo ekitiibwa ky’enjuba, waliwo eky’omwezi, era waliwo ekitiibwa eky’emmunyeenye. Naye era n’emmunyeenye tezenkanankana mu kwaka kubanga buli munyeenye ya njawulo mu kwaka.
Yesu Azuukira
28 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.
2 (B)Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako. 3 (C)Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. 4 Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.
5 (D)Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, 6 (E)wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. 7 (F)Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”
8 Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be. 9 (G)Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza. 10 (H)Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”
Abakuumi bye Baayogera
11 (I)Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo. 12 Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi. 13 Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.” 14 (J)Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.” 15 Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.
Okutumibwa mu Nsi yonna
16 (K)Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.