Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 103

Zabbuli Ya Dawudi.

103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
    ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
    era teweerabiranga birungi bye byonna.
(B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
    n’awonya n’endwadde zo zonna.
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
    era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
(C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
    ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

(D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
    n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
(E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
(F)Taasibenga busungu ku mwoyo,
    era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10 (G)Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
    wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 (H)Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
    n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12 (I)Ebibi byaffe abituggyako
    n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.

13 (J)Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
    ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
14 (K)Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
    era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
15 (L)Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
    akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
16 (M)empewo ekifuuwa, ne kifa;
    nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
    emirembe gyonna,
    n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
18 (N)Be bo abakuuma endagaano ye
    ne bajjukira okugondera amateeka ge.

19 (O)Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
    n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.

20 (P)Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
    mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba,
    era abagondera ekigambo kye.
21 (Q)Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
    mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
22 (R)Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna
    ebiri mu matwale ge gonna.

Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Zabbuli 111

111 Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
    mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

(A)Mukama by’akola bikulu;
    bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
    n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
(B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
    Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
(C)Agabira abamutya emmere;
    era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
    n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
(D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
    n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
(E)manywevu emirembe gyonna;
    era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
(F)Yanunula abantu be;
    n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
    Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
    era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
    Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.

Zabbuli 114

114 (A)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
    abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
    Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

(B)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
    Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
    Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

(C)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
    mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
(D)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
    n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.

Okuva 12:28-39

28 Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.

Ebibereberye Bittibwa

29 (A)Awo ekiro mu ttumbi Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali ow’okumusikira, okutuuka ku mubereberye w’omusibe ali mu kkomera; era n’ente embereberye zonna. 30 (B)Falaawo n’azuukuka mu kiro wakati, ye n’abaweereza be bonna, n’Abamisiri bonna; Misiri yonna n’ejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba n’emu omutaafa muntu.

31 (C)Mu kiro ekyo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze n’abantu bange, mmwe n’abaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba. 32 (D)Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”

33 (E)Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!” 34 Abaana ba Isirayiri ne baddira obuwunga bwabwe obw’emigaati obugotte, obutaliimu kizimbulukusa, ne babussa mu bbakuli omufumbirwa emigaati, ne babuzinga mu ngoye zaabwe, ne babutwalira ku bibegabega byabwe. 35 (F)Baakola nga Musa bwe yabalagira, ne basaba Abamisiri eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu, awamu n’ebyambalo. 36 (G)Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.

Abayisirayiri Basitula Okuva mu Misiri

37 (H)Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa. 38 (I)Waaliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana g’ente mangi, n’ebisibo, bingi nnyo. 39 (J)Ne beefumbira emigaati mu buwunga obugotte bwe baggya mu Misiri, naye tegyalimu kizimbulukusa, kubanga baasindiikirizibwa busindiikirizibwa okuva mu Misiri, ne bataba na budde bwa kwefumbira mmere.

1 Abakkolinso 15:12-28

Okuzuukira kw’Abafu

12 (A)Kale obanga abantu bategeezebwa nti Kristo yazuukizibwa mu bafu lwaki abamu mu mmwe bagamba nti tewali kuzuukira kwa bafu? 13 Kale obanga tewali kuzuukira kwa bafu ne Kristo teyazuukizibwa. 14 (B)Era obanga Kristo teyazuukizibwa, bye tubategeeza tebiriimu, era n’okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa. 15 (C)Ate era tuba ng’aboogera eby’obulimba ku Katonda, kubanga twakakasa nti Katonda yazuukiza Kristo. Naye teyamuzuukiza bwe kiba ng’abafu tebazuukizibwa. 16 Kale obanga abafu tebazuukizibwa, ne Kristo teyazuukizibwa. 17 (D)Era obanga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliimu nsa, era mukyali mu bibi byammwe. 18 Era n’abo abaafa nga bakkiriza Kristo baazikirira. 19 (E)Kale obanga essuubi lyaffe mu Kristo likoma mu bulamu buno bwokka, tuli bakusaasirwa nnyo okusinga abantu bonna.

20 (F)Kyokka ddala Kristo yazuukizibwa mu bafu, era bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa. 21 (G)Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu. 22 (H)Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo. 23 (I)Kyokka buli omu mu luwalo lwe, Kristo ye yasooka era bw’alijja ababe ne baddako, 24 (J)olwo enkomerero n’eryoka etuuka, Kristo n’akwasa Katonda Kitaawe obwakabaka; Kristo ng’amaze okuzikiriza obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna era n’amaanyi gonna. 25 (K)Kubanga Kristo agwanidde okufuga okutuusa bw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. 26 (L)Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa. 27 (M)Kubanga yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bye. Naye bw’agamba nti ebintu byonna biri wansi we, kitegeeza nti aggyeko oli ey’amusobozesa okufuga ebintu byonna. 28 (N)Katonda bw’alimala okussa byonna mu buyinza bwa Kristo, olwo Kristo yennyini, Omwana we, n’alyoka afugibwa Katonda eyamuwa okufuga byonna. Era olwo Katonda n’alyoka afugira ddala byonna.

Makko 16:9-20

Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene

(A)Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu. 10 Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga. 11 (B)N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!

Yesu Alabikira Abayigirizwa Ababiri

12 (C)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo. 13 Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.

Yesu Alabikira Abayigirizwa be Ekkumi n’Omu

14 (D)Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.

15 (E)N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. 16 (F)Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. 17 (G)Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. 18 (H)Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

Yesu Atwalibwa mu Ggulu

19 (I)Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20 Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.