Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
togaya kwegayirira kwange.
2 (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
3 (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.
4 (D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
entiisa y’okufa entuukiridde.
5 (E)Okutya n’okukankana binnumbye;
entiisa empitiridde.
6 Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
7 “Nandiraze wala nnyo,
ne mbeera eyo mu ddungu;
8 (F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”
9 (G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.
15 (K)Okufa kubatuukirire,
bakke emagombe nga bakyali balamu;
kubanga bajjudde okukola ebibi.
16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
n’andokola.
17 (L)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
ndaajana nga bwe nsinda;
n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
nga siriiko kintuseeko
newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (M)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
era abatatya Katonda.
20 (N)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
n’amenya endagaano ye.
21 (O)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
22 (P)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
ajja kukuwanirira;
kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (Q)Naye ggwe, Ayi Katonda,
olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.
Naye nze, neesiga ggwe.
Zabbuli Ya Dawudi.
138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2 (B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4 (C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6 (D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7 (E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8 (F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
Tolekulira ebyo bye watonda.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
139 (G)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 (H)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 (I)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
4 (J)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 (K)Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
6 (L)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7 (M)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8 (N)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9 Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (O)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (P)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13 (Q)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (R)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (S)Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (T)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
19 (U)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (V)Abantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (W)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23 (X)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
9 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe. 10 (B)Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we. 11 (C)Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
12 (D)“Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe. 13 (E)Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”
14 (F)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira, 15 (G)bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya. 16 (H)Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe; 17 (I)tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.
Obubonero bw’Envumbo
6 (A)Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’abembulula akamu ku bubonero bw’envumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n’eddoboozi eryawulikika ng’okubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!” 2 (B)Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ng’agyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; n’aweebwa engule n’agenda ng’awangula, n’awangulira ddala.
3 (C)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!” 4 (D)Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka.
5 (E)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu n’eyali agyebagadde ng’akutte minzaani mu mukono gwe. 6 (F)Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ng’eriva wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo y’obuwunga bwa sayiri nayo bw’eba egula, kyokka omuzigo n’envinnyo tobyonoona.”
7 (G)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!” 8 (H)Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi.
9 (I)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookutaano ne ndaba wansi w’ekyoto emyoyo egy’abo abattibwa olw’okubuulira ekigambo kya Katonda n’olw’okuba abeesigwa mu bujulizi bwabwe. 10 (J)Ne bakaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era ow’amazima, onoosalira ddi abantu b’ensi omusango, n’owoolera eggwanga olw’omusaayi gwaffe?” 11 (K)Buli omu ku bo n’aweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.
12 (L)Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi. 13 (M)Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi, 14 (N)n’eggulu ne lyezingako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.
15 (O)Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi. 16 (P)Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga. 17 (Q)Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”
Endiga n’Embuzi
31 (A)“Omwana w’Omuntu bw’alijja mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye. 32 (B)Awo amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era aligaawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi. 33 Endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo n’embuzi ku gwa kkono.
34 (C)“Awo Kabaka n’alyoka agamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutondebwa kw’ensi. 35 (D)Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, 36 (E)nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.’
37 “Abatuukirivu ne bamubuuza nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? 38 Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? 39 Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?’
40 (F)“Kabaka, alibaddamu nti, ‘Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!’
41 (G)“Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. 42 Kubanga nnali muyala ne mutampa kyakulya, nnali muyonta ne mutampa kyakunywa, 43 nnali mugenyi ne mutannyaniriza, nnali bwereere ne mutannyambaza, nnali mulwadde ne mu kkomera ne mutajja kunnambula.’
44 “Nabo baliddamu nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala oba ng’oli muyonta, oba ng’oli mugenyi oba ng’oli bwereere oba mulwadde oba ng’oli mu kkomera, ne tutakuyamba?’
45 (H)“Naye alibaddamu nti, ‘ddala ddala mbagamba nti, nga bwe mutaakikola omu ku bano abasembayo wansi, nange temwakinkola.’
46 (I)“Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.