Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
2 (B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
kwe nyimiridde.
3 (C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
n’okumwesiganga.
4 (D)Balina omukisa
abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
abasinza bakatonda ab’obulimba.
5 (E)Ayi Mukama Katonda wange,
otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.
6 (F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
Naye onzigudde amatu.
7 Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
8 (G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
9 (H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
Sisirika busirisi,
nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (K)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
mpweddemu amaanyi.
13 (L)Onsasire ayi Mukama ondokole;
Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.
14 (M)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (N)Naye abo abakunoonya basanyuke
era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Mukama agulumizibwenga.”
17 (O)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”
54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2 (B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
3 (C)Abantu be simanyi bannumba;
abantu abalina ettima abatatya Katonda;
bannoonya okunzita.
4 (D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.
5 (E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
obazikirize olw’obwesigwa bwo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 (G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 (H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 (I)Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
8 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti, 9 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. 10 (B)Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
11 (C)“Naye baagaana okuwuliriza ne bakakanyaza emitima gyabwe ne baziba n’amatu gaabwe baleme okuwulira. 12 (D)Ne bakakanyaza emitima gyabwe ng’ejjinja, ne batawuliriza mateeka wadde ebigambo Mukama ow’Eggye bye yaweereza n’Omwoyo we mu mukono gwa bannabbi ab’edda. Mukama ow’Eggye kyeyava abanyiigira ennyo.
13 (E)“ ‘Bwe nabakoowoola ne batafaayo, nange ne ŋŋaana okufaayo nga bankowodde,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 14 (F)Era nabasaasaanya n’omuyaga ogukunta mu mawanga ge baali batamanyi. Ensi gye baaleka n’ebeera matongo nga tewali agibeeramu, ensi ennungi esanyusa, kyeyava efuuka eddungu.”
Mukama Asuubiza Okuzzaawo Yerusaalemi
8 Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:
2 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”
3 (G)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”
4 (H)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde. 5 (I)N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”
6 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 (K)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba: 8 (L)Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”
6 (A)Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi. 7 (B)N’asembera n’aggya omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka. 8 (C)Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu. 9 (D)Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,
“Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo,
n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula,
kubanga wattibwa,
omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika,
na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.
10 (E)N’obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga,
era be balifuga ensi.”
11 (F)Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali. 12 (G)Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Omwana gw’Endiga eyattibwa,
asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi,
n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”
13 (H)Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti,
“Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa,
n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga,
Emirembe n’emirembe.”
14 (I)Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” N’abakadde ne bavuunama ne bamusinza.
Olugero lw’Ettalanta
14 (A)“Obwakabaka bwa Katonda, ate bufaananyizibwa n’olugero lw’omusajja eyali agenda olugendo, n’ayita abaddu be n’abalekera ebintu bye. 15 (B)Eyasooka yamuwa ttalanta ttaano, owookubiri bbiri n’owookusatu emu, ng’ageraageranya ng’okusobola kwa buli omu bwe kwali. Bw’atyo ne yeetambulira. 16 Omusajja eyafuna ttalanta ettaano n’azisuubuzisa n’afunamu ttalanta ttaano endala. 17 N’oyo eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’aviisaamu endala biri. 18 Naye eyaweebwa ttalanta emu, bwe yagifuna n’agenda n’aziika ttalanta ya mukama we mu ttaka.
19 (C)“Awo nga wayiseewo ekiseera kiwanvu, mukama w’abaddu abo n’akomawo. N’ayita abaddu be bamutegeeze ebyafa ku ttalanta ze yabalekera. 20 Omusajja gwe yalekera ttalanta ettaano n’ajja n’amuleetera ttalanta endala ttaano ng’agamba nti, ‘Mukama wange wampa ttalanta ttaano, nviisizaamu ttalanta endala ttaano.’
21 (D)“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira sanyukira wamu ne mukama wo.’
22 “Eyalekerwa ttalanta ebiri naye n’ajja, n’ategeeza mukama we nti, ‘Ssebo, wandekera ttalanta bbiri, era ne nziviisaamu ttalanta endala bbiri.’
23 (E)“Mukama we n’amugamba nti, ‘Weebale, oli muddu mulungi era mwesigwa, obadde mwesigwa mu bintu ebitono, ndikusigira ebintu ebingi. Yingira osanyukire wamu ne mukama wo.’
24 “Omusajja eyalekerwa ttalanta emu n’ajja, n’agamba nti, ‘Ssebo, nakumanya nga bw’oli omuntu omuzibu, okungulira gy’otaasigira era okuŋŋaanyiza gy’otaasaasaanyiza. 25 Olw’okutya bwe wagenda ne nkweka ttalanta yo mu ttaka era yiino ttalanta yo.’
26 “Naye mukama we n’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi era omugayaavu! Obanga wamanya nti ndi muntu akungulira gye ssaasigira, 27 wanditadde ensimbi zange mu bbanka gye bandimpaddemu amagoba nga nkomyewo.’
28 “N’alagira nti, ‘Mumuggyeeko ettalanta eyo mugiwe oli alina ttalanta ekkumi. 29 (F)Kubanga alina aliweebwa abe na bingi naye atalina, n’ebyo by’alina ebitono birimuggyibwako. 30 (G)N’omuddu oyo ataliiko ky’agasa mumusuule ebweru mu kizikiza eri okukaaba n’okuluma obujiji.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.