Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.
18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
2 (A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
3 (B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
era amponya eri abalabe bange.
4 (C)Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
5 (D)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
6 (E)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
7 (F)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
kubanga yali asunguwadde.
8 (G)Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
Omuliro ne guva mu kamwa ke,
ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
9 (H)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 (I)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 (J)Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 (K)Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 (L)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 (M)Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 (N)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
16 (O)Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 (P)Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 (Q)Bannumba nga ndi mu buzibu,
naye Mukama n’annyamba.
19 (R)N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
kubanga yansanyukira nnyo.
20 (S)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (T)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (U)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
era nneekuuma obutayonoona.
24 (V)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
25 (W)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (X)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (Y)Owonya abawombeefu,
naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (Z)Okoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (AA)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
30 (AB)Katonda byonna by’akola bigolokofu;
Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 (AC)Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 (AD)Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 (AE)Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 (AF)Anjigiriza okulwana entalo,
ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 (AG)Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
weetoowazizza n’ongulumiza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
obukongovvule bwange ne butanuuka.
37 (AH)Nagoba abalabe bange embiro,
ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 (AI)Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,
ne mbalinnyako ebigere byange.
39 Ompadde amaanyi ag’okulwana;
abalabe bange ne banvuunamira.
40 (AJ)Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 (AK)Baalaajana naye tewaali yabawonya;
ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.
43 (AL)Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
n’onfuula omufuzi w’amawanga.
Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 (AM)Olumpulira ne baŋŋondera,
bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 (AN)Bannamawanga baggwaamu omutima
ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 (AO)Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 (AP)Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
era akakkanya amawanga ne ngafuga.
Amponyeza abalabe bange.
48 (AQ)Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 (AR)Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 (AS)Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’eri ezzadde lye.
6 (A)“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,
ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,
naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
7 (B)“Ne mbamma enkuba
ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.
Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu
ne ngiziyiza mu kirala.
Yatonnyanga mu nnimiro emu,
mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
8 (C)Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,
naye ne gababula;
naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
9 (D)“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.
Nabileetako obulwadde.
Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,
naye era temwadda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
10 (E)“Nabasindikira kawumpuli
nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
11 (F)“Nazikiriza abamu ku mmwe
nga bwe nakola Sodomu ne Ggomola,
ne muba ng’olumuli olusikiddwa mu muliro ogwaka
naye era ne mulema okudda gye ndi,”
bw’ayogera Mukama.
12 “Kyendiva nkukola bwe ntyo, ggwe Isirayiri,
era ndikwongerako ebibonoobono.
Noolwekyo weetegeke okusisinkana Katonda wo, ggwe Isirayiri.”
13 (G)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
era ye yatonda n’embuyaga
era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
11 Kale obanga ebintu byonna bya kuzikirizibwa, mugwanidde kubeeranga bantu ba mpisa ntukuvu era abatya Katonda, 12 (A)nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olunaku obwengula bwonna[a] bwe buryokebwa ne buzikirizirwa n’ebiburimu ne bisaanuuka ne bisirikka. 13 (B)Naye nga Katonda bwe yatusuubiza, tulindirira obwengula obuggya n’ensi empya omuli obutuukirivu.
14 (C)Kale, abaagalwa, nga bwe mulindirira ebintu ebyo okubaawo mufubenga nnyo okuba abalongoofu abataliiko kya kunenyezebwa nga mulina emirembe. 15 (D)Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. 16 (E)Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.
17 (F)Kale, mmwe abaagalwa, ebyo nga bwe mubitegedde, mwekuume muleme kukyamizibwa abantu abo abajeemu, si kulwa nga babaleetera okugwa ne muva we munyweredde. 18 (G)Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.
Olugero olw’Abalimi
33 (A)“Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo. 34 (B)Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.
35 (C)“Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36 (D)Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka. 37 Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’
38 (E)“Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’ 39 Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta. 40 Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”
41 (F)Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”
42 (G)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti,
“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Kino kyava eri Mukama
era kya kyewuunyo.’
43 (H)“Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. 44 (I)Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”
45 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako. 46 (J)Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.