Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Abo abatya Mukama boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

(C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
    n’annyanukula, n’agimponya.
(D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
    Abantu bayinza kunkolako ki?
(E)Mukama ali nange, ye anyamba.
    Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

(F)Kirungi okwesiga Mukama
    okusinga okwesiga omuntu.
(G)Kirungi okuddukira eri Mukama
    okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
    naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
    naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
    naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
    mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
    naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
    era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
(B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
    era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

(C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
    n’obukulu bwe tebwogerekeka.
(D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
    era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
(E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
    era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
(F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
    nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
(G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
    era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

(H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
    alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

(I)Mukama mulungi eri buli muntu,
    era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
    n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
    era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
    n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
    n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
    n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
    era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
    era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
    ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
    era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
    era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
    emirembe n’emirembe.

Isaaya 19:19-25

19 (A)Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 (B)Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 (C)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 (D)Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.

23 (E)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 (F)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”

Abaruumi 15:5-13

(A)Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, (B)mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.

(C)Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. (D)Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe (E)n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,
    era ne ntendereza erinnya lyo.”

10 (F)Era n’ayongera n’agamba nti:

“Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”

11 (G)Era nate nti,

“Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,
    era abantu bonna bamutenderezenga.”

12 (H)Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,

“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja
    era alisituka okufuga Abaamawanga,
era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”

13 (I)Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

Lukka 19:11-27

Olugero lw’Ensimbi

11 (A)Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo. 12 N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo. 13 (B)Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina[a] kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’

14 “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’

15 “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.

16 “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’

17 (C)“Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’

18 “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’

19 “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’

20 “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi. 21 (D)Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’

22 (E)“Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga, 23 kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’

24 “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’

25 “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’

26 (F)“N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako. 27 Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.