Book of Common Prayer
Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.
102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
2 (B)Tonneekweka
mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
3 (C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
4 (D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
neerabira n’okulya emmere yange.
5 Olw’okwaziirana kwange okunene,
nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
6 (E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
7 (F)Nsula ntunula,
nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
8 Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
9 (G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
mpotoka ng’omuddo.
12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
talinyooma kwegayirira kwabwe.
18 (O)Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja,
abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
19 (P)Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu;
Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
20 (Q)okuwulira okusinda kw’abasibe,
n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
21 (R)Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni,
bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka,
okusinza Mukama.
23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka;
akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
24 (S)Ne ndyoka mmukaabira nti,
“Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange,
ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
25 (T)Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi;
n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
26 (U)Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo.
Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
27 (V)Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera
n’emyaka gyo tegirikoma.
28 (W)Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe;
ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”
EKITABO V
Zabbuli 107–150
107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
3 (C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.
4 (D)Abamu baataataaganira mu malungu
nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
5 Baalumwa ennyonta n’enjala,
obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
6 (E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
7 (F)Yabakulembera butereevu
n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
8 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
9 (G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
n’abayala abakkusa ebirungi.
10 (H)Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11 (I)kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,
ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
12 (J)Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;
baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,
era n’abawonya;
14 (K)n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
15 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,
n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.
17 (L)Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 (M)Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
n’abawonya.
20 (N)Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
n’abalokola mu kuzikirira.
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 (O)Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.
23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 (P)Kubanga yalagira omuyaga
ne gusitula amayengo waggulu.
26 (Q)Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 (R)Omuyaga yagusirisa,
ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 (S)Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.
6 (A)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
Okujja kwa Yesu
7 (B)“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”
8 (C)Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; 9 (D)kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”
10 (E)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 (F)Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.
12 (G)“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 13 (H)Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.
Olugero lw’Endiga Eyabula
10 (A)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].
12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”
Owooluganda Okusonyiwa Muganda we
15 (B)“Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 (C)Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 (D)Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.
18 (E)“Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa.
19 (F)“Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.