Book of Common Prayer
Oluyimba lwa Asafu.
78 (A)Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
musseeyo omwoyo ku bye njogera.
2 (B)Ndyogerera mu ngero,
njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
3 (C)ebintu bye twawulira ne tumanya;
ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
4 (D)Tetuubikisenga baana baabwe,
naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
5 (E)Yawa Yakobo ebiragiro,
n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
babiyigirizenga abaana baabwe,
6 (F)ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
n’abaana abalizaalibwa,
nabo babiyigirize abaana baabwe,
7 (G)balyoke beesigenga Katonda,
era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
naye bagonderenga ebiragiro bye.
8 (H)Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.
9 (I)Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
naye ne badduka mu lutalo,
10 (J)tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 (K)Beerabira ebyo bye yakola,
n’ebyamagero bye yabalaga.
12 (L)Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 (M)Ennyanja yajaawulamu,
amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 (N)Emisana yabakulemberanga n’ekire,
n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 (O)Yayasa enjazi mu ddungu,
n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
n’akulukusa amazzi ng’emigga.
17 (P)Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 (Q)Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 (R)Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
“Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 (S)Weewaawo yakuba olwazi,
amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
Anaawa abantu be ennyama?”
21 (T)Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 (U)Kubanga tebakkiriza Katonda,
era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 (V)Naye era n’alagira eggulu;
n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 (W)N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 (X)N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
okwetooloola eweema zaabwe.
29 (Y)Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 (Z)Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 (AA)obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.
32 (AB)Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 (AC)Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 (AD)Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
ne beenenya ne badda gy’ali.
35 (AE)Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 (AF)Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 (AG)so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 (AH)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
n’abasonyiwanga,
n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 (AI)Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
ng’empewo egenda n’etedda!
40 (AJ)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 (AK)Ne baddamu ne bakema Katonda,
ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 (AL)yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
ne batanywa mazzi gaagyo.
45 (AM)Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 (AN)Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
ne bulusejjera.
47 (AO)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 (AP)Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 (AQ)Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
n’atabasonyiwa kufa,
n’abasindikira kawumpuli.
51 (AR)Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 (AS)N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 (AT)N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 (AU)N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 (AV)Yagobamu amawanga nga balaba,
n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (AW)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (AX)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (AY)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (AZ)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (BA)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (BB)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (BC)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.
65 (BD)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (BE)N’akuba abalabe be ne badduka;
n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (BF)naye n’alonda ekika kya Yuda,
lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (BG)Yalonda Dawudi omuweereza we;
n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (BH)Ave mu kuliisa endiga,
naye alundenga Yakobo, be bantu be,
era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (BI)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.
26 (A)“Naye tebaakugondera, baakujeemera ne batagoberera mateeka go. Batta bannabbi bo, abaababuuliriranga okudda gy’oli; baakola ebitasaana. 27 (B)Kyewava obawaayo eri abalabe baabwe ne bababonyaabonya. Naye nga babonaabona bwe batyo, ne bakukaabirira, n’obawulira okuva mu ggulu, n’olw’okusaasira kwo okungi ennyo n’obaweereza abaabanunula era abaabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe.
28 (C)“Naye bwe baafunanga emirembe, baddangamu okukola ebibi mu maaso go. Kyewava obawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, babafuge. Bwe baakukaabiriranga nate, ng’obawulira okuva mu ggulu, n’obalokolanga emirundi mingi ng’okusaasira kwo bwe kuli.
29 (D)“Wabalabula okuddamu okugoberera amateeka go, naye ne baba b’amalala, ne batagondera biragiro byo. Baajeemera ebiragiro, ebireetera omuntu obulamu bw’aba ng’abigondedde. Baakunyooma ne bakuvaako, ne bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira. 30 (E)Wabagumiikiriza okumala emyaka mingi, Omwoyo wo n’abayigirizanga ng’ayita mu bannabbi bo, naye ne batassaayo mwoyo, kyewava obawaayo mu mukono gw’abamawanga agabaliraanye. 31 (F)Naye olw’okusaasira kwo okungi, tewabaviirako ddala so tewabaleka, kubanga oli Katonda ow’ekisa era ajjudde okusaasira.
32 (G)“Kale nno, Ayi Katonda waffe, omukulu ow’ekitiibwa, Katonda ow’entiisa, akuuma endagaano ye ey’okwagala, toganya bizibu bino byonna kututuukako: ebizibu ebyatuuka ne ku bakabaka baffe, ne ku bakulembeze baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna okuva mu biro ebya bakabaka b’e Bwasuli n’okutuusa leero. 33 (H)Mu byonna ebitutuukako, wali wa bwenkanya, era omwesigwa naye ffe nga tukola bibi byereere. 34 (I)Bakabaka baffe, n’abakulembeze baffe, ne bakabona baffe, ne bajjajjaffe, tebaagobereranga mateeka go, nga tebassaayo mwoyo ku biragiro byo newaakubadde nga wabalabulanga. 35 (J)Ne bwe baali mu bwakabaka bwabwe, nga basanyuka nnyo, mu nsi engazi era enjimu, tebaakuweerezanga newaakubadde okukyuka okuleka amakubo gaabwe amabi.
36 (K)“Laba, tuli baddu leero, abaddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe okulya ebibala byamu n’ebirungi ebirala by’ereeta. 37 (L)Olw’ebibi byaffe, ebikungulwa eby’ensi eyo ebingi bitwalibwa bakabaka be wassaawo okutufuga. Batufuga n’ente zaffe nga bwe baagala, era tuli mu nnaku nnyingi nnyo.”
Endagaano ey’Abantu ne Katonda waabwe
38 (M)“Olw’ebyo byonna, tukola naawe endagaano ey’enkalakkalira, ne tugiteeka mu buwandiike; abakulembeze baffe, n’Abaleevi baffe, ne bakabona baffe ne bagissaako omukono n’envumbo zaabwe.”
9 (A)“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa. 10 (B)Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu!
Ekibuga eky’amaanyi,
Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’
11 (C)“Abasuubuzi b’omu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe. 12 (D)Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo; 13 (E)n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.
14 “Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.” 15 (F)Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olw’okubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olw’okutya okubonaabona kwe, n’okukaaba kwe, n’okunakuwala kwe, 16 (G)nga bagamba nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu,
ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu,
era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.
17 (H)Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’
“Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala. 18 (I)Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’ 19 (J)Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,
“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu!
Kyabagaggawaza bonna
abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu,
naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’
20 (K)“Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe,
nammwe abatukuvu
ne bannabbi n’abatume musanyuke.
Kubanga Katonda amusalidde omusango
ku lwammwe.”
Okukkiriza kw’Omukanani
21 (A)Yesu n’ava mu kifo ekyo, n’agenda mu kitundu omuli ebibuga Ttuulo ne Sidoni. 22 (B)Awo omukazi Omukanani eyali abeera mu bitundu ebyo, n’ajja eri Yesu n’amwegayirira nti, “Onsaasire Mukama wange, Omwana wa Dawudi! Muwala wange aliko dayimooni amubonyaabonya nnyo.”
23 Naye Yesu n’asirika n’atamuddamu kigambo na kimu. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti, “Bw’omugoba n’agenda. Ng’ayitirizza okutukaabirira.”
24 (C)Naye Yesu n’addamu omukazi nti, “Nze saatumibwa walala wonna, wabula eri endiga za Isirayiri ezaabula.”
25 (D)Naye omukazi n’asembera awali Yesu n’amusinza, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”
26 Yesu n’amuddamu nti, “Si kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
27 Omukazi n’addamu nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n’embwa nazo zirya ku bukunkumuka obugwa wansi okuva ku mmeeza ya mukama waazo.”
28 (E)Awo Yesu n’amugamba nti, “Mukazi watu, ng’okukkiriza kwo kunene! Kale kikukolerwe nga bw’oyagala.” Amangwago muwala we n’awonera mu kiseera ekyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.