Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 72

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
    n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
(B)Anaalwaniriranga abaavu,
    n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
    n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
    okwaka mu mirembe gyonna.
(C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
(D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
    n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

(E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
    bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
    n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
    n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 (H)Awangaale!
    Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
    era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
    n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
    era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
    oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
    Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!

20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

Zabbuli 119:73-96

י Yoodi

73 (A)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
    mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (B)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
    kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (C)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
    era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
    nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (D)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
    kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (E)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
    Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
    abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
    nneme kuswazibwa!

כ Kaafu

81 (F)Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 (G)Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
    ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka[a],
    naye seerabira bye walagira.
84 (H)Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
    nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 (I)Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
    be bo abatagondera mateeka go.
86 (J)Amateeka go gonna geesigibwa;
    abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 (K)Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
    naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
    ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.

ל Lamedi

89 (L)Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
    kya mirembe gyonna.
90 (M)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
    watonda ensi era enyweredde ddala.
91 (N)Amateeka go na buli kati manywevu;
    kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
    nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
    kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
    kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
    naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
    naye amateeka go tegakugirwa.

Nekkemiya 13:4-22

(A)Ebyo nga tebinnabaawo, Eriyasibu omu ku bakabona, yali aweereddwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga amawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, kyokka nga mukwano nnyo wa Tobiya. (B)Eriyasibu yali awadde Tobiya ekimu ku bisenge ebigazi omwali muterekebwa ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’omugavu, n’ebintu ebikozesebwa mu kusinza, ne kimu kya kkumi eky’emmere ey’empeke, ne wayini omuggya, awamu n’omuzigo ogwaweebwanga Abaleevi, n’abayimbi, n’abakuumi ba wankaaki, n’ebyo ebyaweebwanga bakabona.

(C)Kyokka ebyo byonna bwe byali bikolebwa, ssaali mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni, nnali nzizeeyo eri kabaka. Oluvannyuma lw’ebbanga, ne nsaba kabaka, (D)ne nkomawo e Yerusaalemi, ne manyisibwa ekibi Eriyasibu kye yali akoze, bwe yawa Tobiya ekisenge mu mpya z’ennyumba ya Katonda. (E)Ne nyiiga nnyo era ne nkasuka ebintu bya Tobiya byonna ebweru, okubiggya mu kisenge. (F)Ne ndagira ebisenge bitukuzibwe, n’oluvannyuma ebintu ebyabeeranga mu nnyumba ya Katonda, n’emmere ey’empeke, n’omugavu ne biddizibwamu.

10 (G)Ne ntegeezebwa ng’emigabo gy’Abaleevi nagyo gyali tegibaweerebbwa, era nga n’Abaleevi bonna awamu n’abayimbi baali bazzeeyo mu bibanja byabwe. 11 (H)Kyenava nnenya abakungu ne mbabuuza nti, “Lwaki ennyumba ya Katonda terabiriddwa?” Bonna ne mbayita ne mbagamba bakomewo mu bifo mwe baabeeranga.

12 (I)Yuda yenna ne baleeta ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke ne wayini omuggya n’omuzigo, ne babiteeka mu mawanika. 13 (J)Ne nnonda Seremiya omu ku bakabona, ne Zadooki omuwandiisi, ne Pedaya omu ku Baleevi balabirirenga amawanika. Ne nnonda ne Kanani mutabani wa Zakkuli, mutabani wa Mattaniya okubayambangako; baali basajja beesimbu.

14 (K)Ozinjukirenga Ayi Katonda wange olw’ekikolwa ekyo, oleme okusangulawo ebyo byonna bye nakolera ennyumba ya Katonda wange, n’okuweereza kwe naweereza n’obwesigwa.

15 (L)Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 16 (M)Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. 17 Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 18 (N)Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”

19 (O)Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti. 20 Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi. 21 Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti. 22 (P)Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.

Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.

Okubikkulirwa 12:1-12

Omukazi n’Ogusota

12 Ne wabaawo ekyewuunyo ekinene mu ggulu. Ne ndaba omukazi ng’ayambadde enjuba n’omwezi nga guli wansi wa bigere bye, ng’alina engule eyaliko emmunyeenye kkumi na bbiri ku mutwe gwe. (A)Yali lubuto era ng’akaaba ng’alumwa okuzaala. (B)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu. (C)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa. (D)Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka. (E)Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.

(F)Ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikayiri ne bamalayika ab’omu kibinja kye ne balwanyisa ogusota n’eggye lya bamalayika baagwo. Ogusota ne guwangulwa era ne gusindiikirizibwa okuva mu ggulu. (G)Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.

10 (H)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti,

“Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge
    n’obwakabaka bwa Katonda waffe
    awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze.
Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe,
    eri Katonda waffe emisana n’ekiro,
    agobeddwa mu ggulu.
11 (I)Ne bamuwangula
    olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga,
    n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe,
ne bawaayo obulamu bwabwe
    nga tebatya na kufa.
12 (J)Noolwekyo ssanyuka ggwe eggulu,
    nammwe abalituulamu musanyuke.
Naye mmwe ensi n’ennyanja zibasanze,
    kubanga Setaani asse gye muli
ng’alina obusungu bungi,
    ng’amanyi nti asigazza akaseera katono.”

Matayo 13:53-58

Yesu Bamwegana e Nazaaleesi

53 (A)Awo Yesu bwe yamala okugera engero ezo n’avaayo, 54 (B)n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe n’ayigiriza mu kuŋŋaaniro lyabwe. N’abeewuunyisa ne bagamba nti, “Yaggya wa amagezi n’ebyamagero ebyo?” 55 (C)Ne beebuuza nti, “Ono si ye mutabani w’omubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda. 56 Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?” 57 (D)Ne bamunyiigira nga balowooza nti abeeragirako. Naye Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa mu buli kifo, okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba y’ewaabwe.”

58 Era yakolerayo ebyamagero bitono olw’obutakkiriza bwabwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.