Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 56-58

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.

56 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;
    buli lunaku bannumba n’amaanyi.
(B)Abalabe bange bannondoola,
    bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.

(C)Buli lwe ntya,
    neesiga ggwe.
(D)Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,
    ye Katonda gwe neesiga; siityenga.
    Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?

(E)Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;
    ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
(F)Beekobaana ne bateesa,
    banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;
    nga bannindirira banzite.
(G)Tobakkiriza kudduka ne bawona;
    mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.

(H)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
    amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
    Wagawandiika.
(I)Bwe nkukoowoola,
    abalabe bange nga badduka.
    Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.

10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
    Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.
    Abantu bayinza kunkolako ki?

12 (J)Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;
    ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.
13 (K)Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
    Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
    mu musana nga ndi mulamu?

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.

57 (L)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
    kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
    okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.

(M)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
    Katonda atuukiriza bye yantegekera.
(N)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
    n’amponya abo abampalana.
    Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.

(O)Mbeera wakati mu mpologoma,
    nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
    Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.

(P)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

(Q)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
    ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
    ate bo bennyini ne babugwamu.

(R)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
    omutima gwange munywevu.
    Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
(S)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
    Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
    ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.

Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
    ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (T)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.

11 (U)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.

58 (V)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
    Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
(W)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
    era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.

Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
    bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
(X)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
    bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
n’etawulira na luyimba lwa mukugu
    agisendasenda okugikwata.

(Y)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
    owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
(Z)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
    Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
(AA)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
    Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!

(AB)Nga n’entamu tennabuguma,
    alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (AC)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
    olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (AD)Awo abantu bonna balyogera nti,
    “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
    Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”

Zabbuli 64-65

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

64 (A)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
    okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.

(B)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
    onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
(C)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
    ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
(D)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
    amangwago ne bamulasa nga tebatya.

(E)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
    ne bateesa okutega emitego mu kyama;
    ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
    “Tukoze enteekateeka empitirivu.”
    Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.

Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
    alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
(F)Ebyo bye boogera biribaddira,
    ne bibazikiriza,
    ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
(G)Olwo abantu bonna ne batya,
    ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
    ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.

10 (H)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
    era yeekwekenga mu ye.
    Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

65 (I)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
    tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
(J)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
    abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
(K)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
    n’otutangiririra.
(L)Alina omukisa oyo gw’olonda
    n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
    eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.

(M)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
    abali ewala mu nnyanja zonna,
(N)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
    n’ozinyweza n’amaanyi go,
(O)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
    n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
    era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
    ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
    okuva ku makya okutuusa akawungeezi.

(P)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
    n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
    okuwa abantu emmere ey’empeke,
    kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
    n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
    ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
    ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (Q)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
    n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (R)Amalundiro gajjula ebisibo,
    n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
    Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.

Nekkemiya 6

Okuwakanya Okuzimba Bbugwe Kweyongera

(A)Awo Sanubalaati, ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n’abalabe baffe abalala bwe baawulira nga nzimbye bbugwe era nga tewali mabanga gaasigalamu, newaakubadde nga twali tetunateekamu nzigi mu miryango, (B)Sanubalaati ne Gesemu ne bampeereza obubaka nti, “Jjangu tusisinkane mu kyalo ekimu eky’omu lusenyi lwa Ono.”

Naye ekigendererwa kyabwe kyali kundeetako kabi. Kyennava mbatumira ababaka okubategeeza nti, “Nnina omulimu munene, siisobole kuserengeta gye muli. Lwaki ndeka omulimu ne nzija okubasisinkana?” Ne baweereza obubaka bwe bumu emirundi ena, buli mulundi ne mbaddangamu mu ngeri y’emu.

(C)Awo Sanubalaati n’antumira omuddu we omulundi ogwokutaano n’ebbaluwa etaali nsibe mu mukono gwe, (D)ng’erimu ebigambo bino nti,

“Tuwulidde mu mawanga, era ne Gesemu akirinako obukakafu, nga ggwe n’Abayudaaya, mweteeseteese okujeema era kyemuvudde muzimba bbugwe, era n’olugambo luyitayita nga ggwe olina enteekateeka ey’okufuuka kabaka waabwe. Kigambibwa nga walonda bannabbi mu Yerusaalemi okukulangiririra nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Noolwekyo obubaka obwo nga tebunatwalibwa eri kabaka, jjangu tukkiriziganye ku nsonga eyo.”

Ne muweereza obubaka nga ŋŋamba nti, “Tewabanga kigambo bwe kityo ku byoyogedde; ogunja bigunje okuva mu mutima gwo.”

Bonna baali bagezaako okututiisatiisa, nga balowooza nti, “Emikono gyabwe girinafuwa omulimu ne gulema okuggwa.” Naye ne nsaba nti, “Ayi Katonda, nyweza emikono gyaffe.”

10 (E)Olunaku olumu ne ŋŋenda mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya, muzzukulu wa Meketaberi; yali yeesibidde mu nnyumba, n’aŋŋamba nti, “Tusisinkane mu nnyumba ya Katonda, mu yeekaalu munda, tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta, ekiro kino bajja kukutta.”

11 Naye ne nziramu nti, “Omusajja nga nze nnyinza okudduka? Kiki ekitwala omusajja afaanana nga nze[a] mu yeekaalu okuwonya obulamu bwange? Sijja kugenda yo.” 12 (F)Ne nkizuula nga Katonda yali tamutumye, naye yali antegeeza ebigambo ebyo kubanga Tobiya ne Sanubalaati baamugulirira. 13 (G)Bamugulirira okuntiisatiisa n’okunkozesa ekyo nnyonoone, balyoke boonoone erinnya lyange nga banjogerako ebigambo ebya swakaba.

14 (H)Ayi Katonda wange ojjukire Tobiya ne Sanubalaati olw’ebikolwa ebyo, era ojjukire ne Nowadiya nnabbi omukazi ne bannabbi abalala abaagezaako okuntiisatiisa.

Bbugwe Amalirizibwa

15 Bbugwe n’aggwa okukola ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano mu mwezi ogwa Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri. 16 Abalabe baffe bonna bwe baakiwulira, amawanga gonna agaali gatwetoolodde ne bamulaba, ne batya era ne baggwaamu omwoyo, kubanga baalaba ng’omulimu gwakolebwa olw’okubeerwa kwa Katonda waffe.

17 Ate era mu biro ebyo abakungu ba Yuda baaweerezanga ebbaluwa eri Tobiya. Tobiya n’aziddangamu. 18 Bangi ku bo mu Yuda abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala, ate nga ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya. 19 Baamuwaanawaananga mu maaso gange, n’oluvannyuma ne bamutegeeza bye nayogeranga. Tobiya n’aweerezanga ebbaluwa okuntiisatiisa.

Okubikkulirwa 10

Malayika n’Omuzingo gw’Ekitabo Omutono

10 (A)Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ng’ayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ng’enjuba ate ebigere bye nga byaka ng’omuliro. Yali alina mu ngalo ze omuzingo gw’ekitabo omutono ng’agwanjuluzza, n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku lukalu. (B)N’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nga liri ng’okuwuluguma kw’empologoma. Ne wabaawo n’okubwatuka kwa mirundi musanvu olw’eddoboozi eryo. (C)Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali n’atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”

(D)Awo malayika gwe nalaba ng’ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu n’ayimusa omukono gwe ogwa ddyo eri eggulu, (E)n’alayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu n’ebintu byonna ebirimu, n’atonda n’ensi n’ebintu byonna ebigirimu, n’atonda n’ennyanja ne byonna ebigirimu, ng’agamba nti, “Tewaliba kulwa nate. (F)Naye mu nnaku ez’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”

(G)Eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gw’ekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”

(H)Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gw’ekitabo ogwo omutono. N’aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ng’omubisi gw’enjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.” 10 Ne nziggya omuzingo ogwo omutono mu mukono gwa malayika ne ngulya, ne gumpomera ng’omubisi gw’enjuki, naye bwe nagumira ne gugulumbya olubuto lwange. 11 (I)Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, n’ensi, n’ennimi ne bakabaka bangi.”

Matayo 13:36-43

Okunnyonnyola Olugero lw’Eŋŋaano y’omu Nsiko

36 (A)Awo bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamusaba abannyonnyole amakulu g’olugero lw’omuddo ogwali mu nnimiro.

37 (B)N’abannyonnyola ng’agamba nti, “Omwana w’Omuntu ye yasiga ensigo ennungi. 38 (C)Ennimiro y’ensi, n’ensigo ennungi be baana b’obwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. 39 (D)Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika.

40 “Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. 41 (E)Omwana w’Omuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, n’abajeemu, 42 (F)babasuule mu nkoomi y’omuliro. Omwo mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji. 43 (G)Naye abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.