Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 106

106 (A)Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

(B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
(C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

(D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
(E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

(F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
(G)Bakadde baffe
    tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
    bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
(H)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
(I)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
    n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (J)Yabawonya abalabe baabwe;
    n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (K)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
    ne wataba n’omu awona.
12 (L)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
    ne bayimba nga bamutendereza.

13 (M)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
    ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (N)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
    ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (O)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
    kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 (P)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
    ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (Q)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
    Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (R)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
    ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (S)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
    ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (T)Ekitiibwa kya Katonda
    ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (U)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
    eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (V)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
    n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (W)N’agamba nti,
    Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
    n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24 (X)Baanyooma eby’ensi ennungi,
    kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 (Y)Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
    ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 (Z)Kyeyava yeerayirira
    nti alibazikiririza mu ddungu,
27 (AA)era nga n’abaana baabwe
    balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28 (AB)Baatandika okusinza Baali e Peoli;
    ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
    kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 (AC)Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
    kawumpuli n’agenda.
31 (AD)Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
    emirembe gyonna.
32 (AE)Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
    ne baleetera Musa emitawaana;
33 (AF)kubanga baajeemera ebiragiro bye,
    ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34 (AG)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
    nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (AH)naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 (AI)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.
37 (AJ)Baawaayo batabani baabwe
    ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (AK)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (AL)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 (AM)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
    n’akyawa ezzadde lye.
41 (AN)N’abawaayo eri amawanga amalala,
    abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
    ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (AO)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
    naye obujeemu ne bubalemeramu,
    ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 (AP)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
    n’abakwatirwa ekisa;
45 (AQ)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
    okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (AR)N’abaleetera okusaasirwa
    abo abaabawambanga.
47 (AS)Ayi Mukama Katonda,
    otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
    era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 (AT)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.

Engero 3:11-20

11 (A)Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama,
    n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 (B)kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,
    nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

13 Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi,
    omuntu oyo afuna okutegeera,
14 (C)kubanga amagezi gasinga ffeeza
    era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 (D)Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi:
    era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 (E)Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi;
    ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 (F)Mu magezi mulimu essanyu,
    era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 (G)Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza;
    abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.

19 (H)Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi;
    n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja,
    era n’ebire ne bivaamu omusulo.

1 Yokaana 3:18-4:6

18 (A)Abaana abaagalwa, tetusaana kwagala mu bigambo kyokka, wabula twagalanenga ne mu bikolwa ne mu bulamu obulabika eri abantu.

19 Mu ekyo mwe tutegeerera nga tuli ba mazima, era ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge. 20 Singa omutima gwaffe tegutusalira musango, Katonda ye asinga omutima gwaffe era ye ategeera ebintu byonna. 21 (B)Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda. 22 (C)Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa. 23 (D)Era kino ky’atulagira nti, tukkiririze mu linnya ly’Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga ye bwe yatulagira. 24 (E)Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.

Mugezese Emyoyo

(F)Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi. (G)Eno y’engeri gye tutegeeramu Mwoyo wa Katonda: buli ayatula nti Yesu Kristo yafuuka omubiri, ng’ava eri Katonda, oyo y’alina Mwoyo wa Katonda. (H)Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogw’Omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.

(I)Mmwe, abaana abaagalwa, muli ba Katonda era mumaze okuwangula, kubanga oyo ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi. (J)Bo ba nsi era boogera bya nsi, era abantu b’ensi kyebava babawuliriza. (K)Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo y’engeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obulimba.

Yokaana 11:17-29

17 (A)Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. 18 (B)Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. 19 (C)Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. 20 (D)Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. 21 (E)Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. 22 (F)Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”

23 Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”

24 (G)Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”

25 (H)Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, 26 na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”

27 (I)Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”

28 (J)Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.” 29 Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.