Book of Common Prayer
137 (A)Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
2 Ne tuwanika ennanga zaffe
ku miti egyali awo.
3 (B)Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
omukono gwange ogwa ddyo gukale!
6 (C)Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
okusinga ebintu ebirala byonna.
7 (D)Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
8 (E)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
yeesiimye oyo alikusasula ebyo
nga naawe bye watukola.
9 (F)Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
n’ababetentera[b] ku lwazi.
Zabbuli ya Dawudi.
144 (A)Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
atendeka emikono gyange okulwana,
era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2 (B)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
3 (C)Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 (D)Omuntu ali nga mukka.
Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
5 (E)Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6 (F)Myansa abalabe basaasaane,
era lasa obusaale bwo obazikirize.
7 (G)Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
omponye,
onzigye mu mazzi amangi,
era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8 (H)ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.
9 (I)Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10 (J)ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11 (K)Ndokola, omponye onzigye
mu mukono gwa bannamawanga bano
ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12 (L)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13 Amawanika gaffe gajjule ebibala
ebya buli ngeri.
Endiga zaffe zizaale
enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14 Ente zaffe ziwalule ebizito.
Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa.
Waleme kubaawo kukaaba
n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15 (M)Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!
Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.
104 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo;
ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
2 (B)Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
n’abamba eggulu ng’eweema,
3 (C)n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
ebire abifuula amagaali ge,
ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4 (D)Afuula empewo ababaka be,
n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.
5 (E)Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
teyinza kunyeenyezebwa.
6 (F)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 (G)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 (H)gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
10 (I)Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 (J)Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
ne biyimbira mu matabi.
13 (K)Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 (L)Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
n’ebirime abantu bye balima,
balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 (M)Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,
n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 (N)Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 (O)Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.
19 (P)Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 (Q)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 (R)Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 (S)Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 (T)Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 (U)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (V)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
ejjudde ebitonde ebitabalika,
ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (W)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.
27 (X)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (Y)Bw’ogibiwa,
nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
ne bikkusibwa.
29 (Z)Bw’okweka amaaso go
ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
ne bifuna obulamu obuggya;
olwo ensi n’ogizza buggya.
31 (AA)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (AB)Atunuulira ensi, n’ekankana;
bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.
33 (AC)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (AD)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 (AE)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.
Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.
Mumutenderezenga Mukama.
Yobu Akolimira Olunaku kwe Yazaalirwa
3 Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. 2 N’agamba nti,
3 (A)“Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire,
n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi.
4 Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza,
omusana guleme okulwakako,
Katonda aleme okulufaako.
5 (B)Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule,
ekire kirutuuleko,
ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo.
6 (C)Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage,
luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka,
wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi.
7 Yee, lubeere lugumba,
waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako.
8 (D)Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire,
n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire.
9 (E)Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza,
lulindirire ekitangaala kirubulwe,
luleme okulaba ebikowe by’oku nkya.
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange,
nneme okulaba obuyinike.
11 (F)“Lwaki saafa nga nzalibwa,
oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange?
12 (G)Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako
era n’amabeere okugayonka?
13 (H)Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde,
nandibadde neebase nga neewummulidde,
14 (I)wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi,
abezimbira embiri kaakano amatongo,
15 (J)oba n’abalangira abaalina zaabu,
abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe.
16 (K)Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde,
atalabye ku kitangaala?
17 (L)Eyo ababi gye batatawaanyizibwa,
era n’abakooye gye bawummulira.
18 (M)Abasibe gye bawummulira awamu,
gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira.
19 Abakopi n’abakungu gye babeera;
abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe.
20 (N)“Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala,
ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo,
21 (O)era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja,
n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa,
22 abajaguza ekisukkiridde,
ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana?
23 (P)Lwaki okuwa ekitangaala oyo,
atayinza kulaba kkubo,
Katonda gw’akomedde?
24 (Q)Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya,
n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi.
25 (R)Ekintu kye nantiiranga ddala
era kye nakyawa kye kyantukako.
26 (S)Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe,
wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.”
10 (A)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”
N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”
11 (B)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (C)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”
13 (D)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (E)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”
15 (F)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (G)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.
17 (H)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (I)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.
Yesu y’Emmere ey’Obulamu
41 Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42 (A)Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”
43 Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44 (B)Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 45 (C)Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 46 (D)Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47 Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! 48 (E)Nze mmere ey’obulamu. 49 (F)Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 50 (G)Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 51 (H)Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.