Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 61-62

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
    wulira okusaba kwange.

(B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
    omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
    Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
(C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
    Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

(D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
    ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
(E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
    ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

(F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
    emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
(G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
    Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

(H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
    nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

62 (I)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
    oyo obulokozi bwange mwe buva.
(J)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
    ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.

(K)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
    mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
    ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
(L)Bateesa okumuggya
    mu kifo kye ekinywevu,
    basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
    so nga munda bakolima.

Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
    kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
    ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
(M)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
    ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
(N)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
    mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
    kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

(O)Abaana b’abantu mukka bukka,
    abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
    n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (P)Temwesigamanga ku bujoozi
    wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
    era temubumalirangako mwoyo gwammwe.

11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
    kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12     (Q)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
    ng’ebikolwa bye bwe biri.

Zabbuli 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
(B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
(C)Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

(D)Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
(E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
(F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

(G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
(H)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
(I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
    ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 (K)“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
    abantu ne bagabana omunyago.
13 (L)Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
    Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
    ebiwaawaatiro byalyo.”
14 (M)Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
    ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
    ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 (N)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
    Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
    Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 (O)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 (P)Bwe walinnyalinnya olusozi,
    ng’abanyage bakugoberera;
    abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
    bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 (Q)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (R)Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (S)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
    kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (T)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
    ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (U)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
    n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

24 (V)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
    balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (W)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
    ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (X)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
    mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (Y)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
    ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
    n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
    otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (Z)Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (AA)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
    eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
    Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (AB)Ababaka baliva e Misiri,
    ne Kuusi aligondera Katonda.

32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
    Mutendereze Mukama.
33 (AC)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
    eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (AD)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
    ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
    obuyinza bwe buli mu bire.
35 (AE)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
    Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.

Balam 2:1-5

(A)Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna; (B)nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo? (C)Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ”

Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga. Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.

Balam 2:11-23

11 (A)Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali. 12 (B)Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri. 13 (C)Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi. 14 (D)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo. 15 Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.

16 (E)Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. 17 (F)Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama. 18 (G)Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa. 19 (H)Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.

20 (I)Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, 21 (J)siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde. 22 (K)Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.” 23 Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.

Abaruumi 16:17-27

Ebisembayo

17 (A)Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. 18 (B)Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu. 19 (C)Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.

20 (D)Kaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu.

Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.

21 (E)Timoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde.

22 Nange Terutiyo[a] awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe.

23 (F)Gaayo[b] ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.

24 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.

Pawulo abasiibula n’okusaba

25 (G)Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, 26 kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, 27 (H)Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.

Matayo 27:32-44

Okukomererwa kwa Yesu

32 (A)Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu. 33 (B)Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,” 34 (C)ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana. 35 (D)Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 36 (E)Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma. 37 Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti,

“Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”

38 (F)Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono. 39 (G)Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe 40 (H)nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”

41 Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti, 42 (I)“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza! 43 (J)Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’ ” 44 N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.