Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 1-4

EKITABO I

Zabbuli 1–41

(A)Alina omukisa omuntu
    atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
    newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
(B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
    era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
(C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
    ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
    Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

(D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
    Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
(E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
    newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

(F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
    naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
(G)Lwaki amawanga geegugunga
    n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
(H)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
    n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
    ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
(I)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
    era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

(J)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
    abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
(K)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
    n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
    ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

(L)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
    olwa leero nfuuse kitaawo.
(M)Nsaba,
    nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
    era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
(N)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
    era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
    muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (O)Muweereze Mukama nga mumutya,
    era musanyuke n’okukankana.
12 (P)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
    n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
    Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
(Q)Bangi abanjogerako nti,
    “Katonda tagenda kumununula.”

(R)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
(S)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
    n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

(T)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(U)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(V)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(W)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(X)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
    Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
    Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

(Y)Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
    Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
(Z)Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
    Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

(AA)Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
    mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
(AB)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
    era mwesigenga Mukama.

(AC)Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
    otumulisize omusana gw’amaaso go.”
(AD)Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
    erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

(AE)Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
    kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
    ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Zabbuli 7

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

(A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
    ngobaako bonna abangigganya era omponye,
(B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
    ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

(C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
    era ng’engalo zange ziriko omusango,
obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
    oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
    bankube wansi banninnyirire,
    banzitire mu nfuufu.

(D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
    Golokoka, Ayi Katonda wange,
    onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
    obafuge ng’oli waggulu ennyo.
    (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era n’amazima agali mu nze bwe gali.
(F)Ayi Katonda omutukuvu,
    akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
    era onyweze abatuukirivu.

10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
    alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
    era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
    n’aleega omutego gwe
    ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
    era akozesa obusaale obw’omuliro.

14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
    n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
    ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
    n’obukambwe bwe bumuddire.

17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
    nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Yeremiya 36:11-26

11 Mikaaya mutabani wa Gemaliya mutabani wa Safani bwe yawulira ebigambo bya Mukama byonna ebyali mu muzingo, 12 (A)n’agenda eri ennyumba y’omuwandiisi mu lubiri lwa kabaka, abakungu bonna gye baali batudde: Erisaama omuwandiisi, ne Deraya mutabani wa Semaaya, ne Erunasani mutabani wa Akubooli, ne Gemaliya mutabani wa Safani, ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya, n’abakungu bonna abalala. 13 Mikaaya ng’ababuulidde byonna bye yali awulidde Baluki asomera abantu okuva ku muzingo, 14 (B)abakungu bonna ne batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki amugambe nti, “Leeta omuzingo gw’osomedde abantu, naawe ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n’atwalira omuzingo mu mikono gye n’agubaleetera. 15 Ne bamugamba nti, “Tuula wansi, ogutusomere.” Awo Baluki n’agubasomera.

16 Bwe baawulira ebigambo ebyo byonna, buli omu n’atunula ku munne ng’atidde ne bagamba Baluki nti, “Tuteekwa okubuulira kabaka ebigambo bino byonna.” 17 Awo ne babuuza Baluki nti, “Tubuulire, wazze otya okuwandiika bino byonna? Yeremiya ye yabikugambye?”

18 (C)Baluki n’abaddamu nti, “Weewaawo ye yayogedde ebigambo bino byonna, nze ne mbiwandiika ne bwino ku muzingo.”

19 (D)Awo abakungu bonna ne bagamba Baluki nti, “Ggwe ne Yeremiya mugende mwekweke. Temukkiriza muntu yenna kumanya gye muli.”

20 Bwe baamala okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi, ne bagenda eri kabaka mu luggya ne bamutegeeza byonna. 21 (E)Kabaka n’atuma Yekudi okuleeta omuzingo, Yekudi n’aguleeta okuva mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi agusomere kabaka n’abakungu bonna abaali bamuyimiridde ku lusegere. 22 (F)Gwali mwezi gwa mwenda ne kabaka yali atudde mu nnyumba etuulwamu mu budde obw’obutiti, ng’omuliro gwakira mu kibya kyagwo mu maaso ge. 23 (G)Buli Yekudi lwe yasomangako empapula ssatu oba nnya ez’omuzingo, kabaka ng’azisala n’akambe k’omuwandiisi n’azisuula mu muliro okutuusa omuzingo gwonna lwe gwajjiira mu muliro. 24 (H)Kabaka n’abantu bonna abaawulira ebigambo bino tebaatya, wadde okuyuza engoye zaabwe. 25 Newaakubadde nga Erunasani, ne Deraaya ne Gemaliya beegayirira kabaka obutayokya muzingo, teyabawuliriza. 26 (I)Naye kabaka yalagira Yerameeri mutabani wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azulyeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne nnabbi Yeremiya, wabula Mukama ng’abakwese.

1 Abakkolinso 13

Okwagala

13 (A)Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala. (B)Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. (C)Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

(D)Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. (E)Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. (F)Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

(G)Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma. (H)Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu. 10 (I)Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo eby’ekitundu nga biggwaawo. 11 Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito. 12 (J)Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.

13 (K)Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.

Matayo 10:5-15

(A)Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya. (B)Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula. (C)Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’ Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

(D)“Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe, 10 (E)wadde ensawo ey’oku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gw’engatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa eby’okumuyamba. 11 Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka g’omuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 12 (F)Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe. 13 Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 14 (G)Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu[a] ey’oku bigere byammwe. 15 (H)Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.