Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 40

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
    n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
(B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
    n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
    kwe nyimiridde.
(C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
    oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
    n’okumwesiganga.

(D)Balina omukisa
    abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
    abasinza bakatonda ab’obulimba.
(E)Ayi Mukama Katonda wange,
    otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
    tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
    sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.

(F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
    Naye onzigudde amatu.
Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
    nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
(G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
    kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

(H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
    Sisirika busirisi,
    nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
    naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
    sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.

11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
    amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (K)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
    ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
    mpweddemu amaanyi.
13 (L)Onsasire ayi Mukama ondokole;
    Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.

14 (M)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
    n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (N)Naye abo abakunoonya basanyuke
    era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    Mukama agulumizibwenga.”

17 (O)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
    Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
    Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.

Zabbuli 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
    n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
(B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
    owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

(C)Abantu be simanyi bannumba;
    abantu abalina ettima abatatya Katonda;
    bannoonya okunzita.

(D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
    Mukama ye mukuumi wange.

(E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
    obazikirize olw’obwesigwa bwo.

(F)Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
    ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
    kubanga ddungi.
(G)Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
    era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Zabbuli 51

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.
(B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
    ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

(C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
    era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
(D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
    ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
    era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
(E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
(F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
    Ompe amagezi munda ddala mu nze.

(G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
    onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
(H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
    amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
(I)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
    era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
    era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
    n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
    ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
    olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
    n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
    Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
    ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
    n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.

1 Bassekabaka 18:20-40

20 Awo Akabu n’atumira abantu ba Isirayiri bonna, era n’akuŋŋaanya ne bannabbi bonna ku lusozi Kalumeeri. 21 (A)Awo Eriya n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.”

Naye abantu ne batamuddamu kigambo na kimu.

22 (B)Eriya n’abagamba nti, “Nze nsigaddewo nzekka ku bannabbi ba Mukama, naye Baali alina bannabbi ebikumi bina mu ataano. 23 Kale mutuwe ente ennume bbiri, bo beerobozeeko emu, bagitemeeteme, bagiteeke ku nku, naye tebagikumamu. Nange naalongoosa eyookubiri, ne ngiteeka ku nku naye sijja kuzikumamu muliro. 24 (C)Kale oluvannyuma mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, nange nnaakowoola erinnya lya Mukama; anaddamu n’omuliro nga ye Katonda.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Ky’oyogedde kirungi.”

25 Eriya n’agamba bannabbi ba Baali[a] nti, “Mmwe musooke okweroboza ente emu ennume nga bwe muli abangi, mugiteeketeeke. Mukoowoole erinnya lya katonda wammwe, naye temukoleeza muliro.” 26 (D)Ne batwala ente ebaweereddwa ne bagiteekateeka.

Oluvannyuma ne bakoowoola erinnya lya Baali okuva ku makya okutuusa mu ttuntu. Ne baleekaanira waggulu nti, “Ayi Baali, otuwulire!” Naye ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna. Ne bazina nga beetooloola ekyoto kye baali bakoze.

27 (E)Mu ssaawa ez’omu ttuntu Eriya n’atandika okubaduulira, ng’ayogera nti, “Muleekaane nnyo! Katonda ddala! Osanga ali mu birowoozo bingi, oba aliko ebimutawaanya, oba ali ku lugendo. Ayinza okuba nga yeebase, nga yeetaaga kumuzuukusa.” 28 (F)Ne baleekaana nnyo nga bwe beesala n’obwambe ne beefumita n’amafumu ng’empisa yaabwe bwe yali, okutuusa omusaayi lwe gwabakulukuta. 29 (G)Obudde bwali buyise nnyo, naye ne beeyongera okulagula kwabwe okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi. Ne wataba kuddibwamu, newaakubadde eddoboozi lyonna, wadde assaayo omwoyo.

30 (H)Awo Eriya n’alyoka agamba abantu bonna nti, “Musembere kumpi nange.” Bonna ne bamusemberera, n’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali kisuuliddwa. 31 (I)N’addira amayinja kkumi n’abiri, buli limu n’aliteeka ku linnaalyo ng’ebika bya Yakobo bwe byali, Mukama gwe yayogerako nti, “Erinnya lye linaabanga Isirayiri.” 32 (J)N’azimba ekyoto mu linnya lya Mukama n’amayinja ago, n’asima olusalosalo okwetooloola ekyoto, ng’alugyamu lita kkumi na ttaano ez’amazzi. 33 (K)N’atindikira enku, n’atemaatema ente, n’agiteekako. N’alyoka abagamba nti, “Mujjuze ebibya bina amazzi, mugafuke ku kiweebwayo ne ku nku.” 34 N’abagamba baddemu bakole bwe batyo omulundi ogwokubiri, ne bakiddamu, ate era n’abagamba okuddamu omulundi ogwokusatu ne baddamu ogwokusatu nga bwe yalagira. 35 Amazzi ne gakulukuta okwetooloola ekyoto, n’okujjula ne gajjula olusalosalo.

36 (L)Mu kiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi, nnabbi Eriya n’asembera mu maaso n’asaba nti, “Ayi Mukama, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isirayiri, olwa leero kimanyibwe nti ggwe Katonda mu Isirayiri, era nti nze muddu wo, era nkoze ebintu bino byonna olw’ekigambo kyo. 37 Onziremu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.”

38 (M)Omuliro gwa Mukama ne gulyoka gugwa ne gwokya ekiweebwayo, n’enku, n’amayinja, n’ettaka, ne gumalirawo ddala n’amazzi mu lusalosalo. 39 (N)Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!” 40 (O)Eriya n’alyoka abalagira nti, “Mukwate bannabbi ba Baali, waleme okuba n’omu abaddukako.” Ne babakwata, Eriya n’abaserengesa ku kagga Kisoni, n’abattira eyo.

Abafiripi 3:1-16

Obutuukirivu obwa Nnama ddala

Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga mu Mukama waffe. Okuddamu ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya kubanga kyongera kubanyweza. (A)Mwekuumenga embwa, era mwekuumenga ab’empisa embi, era mwekuumenga abakomola omubiri. (B)Kubanga ffe bakomole, abasinza Katonda ng’Omwoyo bw’atuluŋŋamya, era twenyumiririza mu Kristo Yesu so tetwesiga mubiri.

Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. (C)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, (D)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.

(E)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. (F)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, (G)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (H)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (I)nga nsuubira nga nange ndizuukira.

12 (J)Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune. 13 (K)Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. 14 (L)Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.

15 (M)Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira. 16 Naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.

Matayo 3:1-12

Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama

(A)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, (B)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” (C)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,

“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
    muluŋŋamye amakubo ge!’ ”

(D)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.

(E)Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? (F)Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 10 (G)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.

11 (H)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (I)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.