Book of Common Prayer
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
8 (E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
9 Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
15 (H)Awangaale!
Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.
Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
י Yoodi
73 (A)Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba,
mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
74 (B)Abo abakutya banandabanga ne basanyuka,
kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
75 (C)Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu,
era wali mutuufu okumbonereza.
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse,
nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
77 (D)Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu;
kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
78 (E)Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze.
Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
79 Abo abakutya bajje gye ndi,
abategeera amateeka go.
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go,
nneme kuswazibwa!
כ Kaafu
81 (F)Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo,
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
82 (G)Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo;
ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka[a],
naye seerabira bye walagira.
84 (H)Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi
nga tonnabonereza abo abanjigganya?
85 (I)Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo;
be bo abatagondera mateeka go.
86 (J)Amateeka go gonna geesigibwa;
abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
87 (K)Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno;
naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange,
ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
ל Lamedi
89 (L)Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu,
kya mirembe gyonna.
90 (M)Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna;
watonda ensi era enyweredde ddala.
91 (N)Amateeka go na buli kati manywevu;
kubanga ebintu byonna bikuweereza.
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go,
nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
93 Siyinza kwerabira biragiro byo;
kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
94 Ndi wuwo, ndokola,
kubanga neekuumye bye walagira.
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza;
naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
96 Ebintu byonna biriko we bikoma
naye amateeka go tegakugirwa.
Obutukuvu n’Enneeyisa y’Omuntu
19 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa 2 (A)ategeeze ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri abagambe nti, “Mubeerenga batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
3 (B)“Buli omu mu mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa; era mukuumenga Ssabbiiti zange. Nze Mukama Katonda wammwe.
4 (C)“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
5 “Bwe munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo olw’emirembe, mukiwengayo mu butuufu kiryoke kikkirizibwe. 6 Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwe kinaaweebwangayo oba enkeera; ekinaabanga kisigaddewo okutuusa ku lunaku olwokusatu kinaazikiribwanga mu muliro. 7 Singa kiriibwa ku lunaku olwokusatu tekiibenga kirongoofu, era tekikkirizibwenga, 8 ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango; kubanga anaabeeranga aweebudde ekintu kya Mukama ekitukuvu; omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
9 (D)“Bw’okungulanga ekyengera eky’omu ttaka lyo, tokunguliranga ddala ebibala byonna eby’omu nnimiro yo okutuuka ku nkomerero zaayo, oba okukuŋŋaanya obubala obutonotono obunaabanga bugudde wansi ng’okungula. 10 Ennimiro yo ey’emizabbibu togimalirangamu ddala bibala byonna, n’ebyo ebibanga bigudde wansi tobikuŋŋaanyanga. Obirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
11 (E)“Tobbanga.
“Tokumpanyanga.
“Temulimbagananga.
12 (F)“Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
13 (G)“Muliraanwa wo tomujooganga so tomunyagangako bibye.
“Tosulanga na mpeera ya mupakasi wo n’omala nayo ekiro kyonna okutuusa enkya nga tonnagimusasula.
14 (H)“Omuggavu w’amatu tomukolimiranga, so n’omuzibe w’amaaso tomuteganga nkonge w’anaayita, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
15 (I)“Tosalirizanga ng’olamula; tobanga na kyekubiira ku ludda lw’omwavu wadde okwekubiira ku ludda lw’ow’ekitiibwa, banno obasalirangawo mu bwenkanya.
16 (J)“Togendanga ng’osaasaanya eŋŋambo mu banno.
“Tokolanga kintu kyonna ku munno ekiyinza okumuleetera okufiirwa obulamu bwe. Nze Mukama.
Etteeka ku Kwagala
17 (K)“Muganda wo tomukyawanga mu mutima gwo. Naye munno ng’asobezza, omunenyanga, si kulwa nga naawe ogwa mu kibi nga ye.
18 (L)“Towalananga ggwanga oba okusiba ekiruyi ku mwoyo eri munno yenna ow’omu nsi yo, naye yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Nze Mukama.
Ebiragiro Ebisembayo
12 (A)Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 (B)mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 (C)Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 (D)Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 (E)Musanyukenga ennaku zonna.
Musabenga
17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 (F)Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 (G)era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 (H)naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
23 (I)Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 (J)Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
25 (K)Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
Obugagga obw’Amazima
19 (A)“Temweterekeranga byabugagga wano ku nsi kwe biyinza okwonoonebwa ennyenje n’obutalagge, n’ababbi kwe bayinza okubibbira. 20 (B)Naye mweterekerenga obugagga bwammwe mu ggulu gye butayinza kwonoonebwa nnyenje wadde obutalagge, n’ababbi gye batayinza kuyingira kububba. 21 (C)Kubanga obugagga bwo gye buli n’omutima gwo gye gunaabeeranga.”
22 “Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo, noolwekyo eriiso bwe liba eddamu, omubiri gwo gwonna gujjula ekitangaala ng’eky’omusana. 23 Naye eriiso lyo bwe liba ebbi, omubiri gwo gwonna gunaabeeranga n’ekizikiza, noolwekyo ekizikiza ekyo kiba kikwafu nnyo!”
24 (D)“Tewali n’omu ayinza kuweereza bakulu babiri, kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.[a] ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.