Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
88 (A)Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange,
nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
2 Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;
otege okutu kwo nga nkukoowoola.
3 (B)Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,
era nsemberedde okufa.
4 (C)Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;
nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
5 (D)Bandese wano ng’afudde,
nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,
nga tokyaddayo kubajjukira,
era nga tewakyali kya kubakolera.
6 (E)Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,
era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
7 (F)Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,
ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
8 (G)Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,
n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.
Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
9 (H)Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku.
Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,
ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 (I)Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?
Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 (J)Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe
n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12 Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?
Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?
13 (K)Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;
buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 (L)Ayi Mukama, onsuulidde ki?
Onkwekedde ki amaaso go?
15 (M)Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 (N)Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
binsaanikiridde ddala.
18 (O)Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
nsigazza nzikiza yokka.
Obwesige bw’oyo atya Katonda.
91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
2 (B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
3 (C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
ne kawumpuli azikiriza.
4 (D)Alikubikka n’ebyoya bye,
era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
5 (E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
wadde akasaale akalasibwa emisana;
6 newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
7 Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,
n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,
naye olumbe terulikutuukako.
8 (F)Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;
n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.
9 Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (G)tewali kabi kalikutuukako,
so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (H)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
bakukuume mu makubo go gonna.
12 (I)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (J)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.
14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (K)Anankowoolanga ne muyitabanga;
nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (L)Ndimuwangaaza n’asanyuka
era ndimulaga obulokozi bwange.”
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (M)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (N)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (O)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (P)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5 (Q)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6 (R)Omuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7 newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
9 (S)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (T)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11 (U)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
12 (V)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (W)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (X)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (Y)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
17 (A)Awo omukuumi eyali mu kigo mu Yezuleeri, bwe yalengera ekibinja kya Yeeku nga kijja, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Waliwo ekibinja kye nnengera ekijja.”
Yolaamu n’alagira nti, “Mufune omu ku beebagala embalaasi, mumutume agende abasisinkane, ababuuze nti, ‘Mujja mirembe?’ ”
18 Awo eyeebagala embalaasi n’agenda okusisinkana Yeeku, n’amugamba nti, “Kabaka abuuza nti, ‘Mujja mirembe?’ ”
Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.” Omukuumi eyali mu kigo n’ayogera nti, “Atuuse gye bali, naye tadda.”
19 Awo kabaka n’atuma eyeebagala embalaasi owookubiri. Bwe yatuuka we baali, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Mujja mirembe?’ ” Yeeku n’amuddamu nti, “Emirembe ogifaako ki? Kyuka odde ennyuma wange ongoberere.”
20 (B)Omukuumi n’addamu n’ayogera nti, “Oli naye atuuse, gye bali, naye tadda. N’enneebagala y’embalaasi efaanana ng’enneebala ya Yeeku muzzukulu wa Nimusi, kubanga enneebagala ye yakiralu.”
21 (C)Yolaamu n’ayogera nti, “Muteeketeeke eggaali lyange.” Bwe baamala okuliteekateeka, Yolaamu kabaka wa Isirayiri ne Akaziya kabaka wa Yuda, ne bafuluma ekibuga, buli omu ng’ali mu ggaali lye, ne bagenda okusisinkana Yeeku, era baamusisinkanira mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. 22 (D)Awo Yolaamu bwe yalaba Yeeku, n’amubuuza nti, “Ojja mirembe Yeeku?” Yeeku n’amuddamu nti, “Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi n’obulogo bwa nnyoko Yezeberi?” 23 (E)Amangwago Yolaamu n’akyusa n’adduka, ng’akoowoola Akaziya ng’agamba nti, “Akaziya waliwo olukwe!”
24 (F)Awo Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’obusaale bwe, n’amaanyi ge gonna n’anaanuula omutego n’alasa Yolaamu mu kibegabega, akasaale ne kafumita omutima gwe, n’agwa mu ggaali lye. 25 (G)Yeeku n’agamba Bidukali, omugoba we ggaali lye nti, “Mumuggyeemu, mumusuule mu nnimiro eyali eya Nabosi Omuyezuleeri. Ojjukira bwe twali tuvugira amagaali gaffe emabega wa Akabu kitaawe, Mukama n’ayogera nti ekintu kino kirimutuukako. 26 (H)‘Mazima ddala, nga jjo bwe nnalabye omusaayi gwa Nabosi n’omusaayi gw’abaana be, siireme kukusasulira mu kibanja kino kyennyini,’ bw’ayogera Mukama. Kaakano mumusitule mumusuule mu kibanja ekyo ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri.”
27 (I)Awo Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba ebyabaawo, n’addukira mu kkubo ery’omu nnyumba ey’ennimiro. Yeeku n’amugoba, nga bw’ayogerera waggulu nti, “Naye mumutte!” Ne bamulasa, ne bamuleetako ekiwundu ng’addukira e Guli ekiriraanye Ibuleamu, ng’ali mu ggaali lye, naye n’asobola okutuuka e Megiddo, era eyo gye yafiira. 28 (J)Abaddu be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali ne bagutwala e Yerusaalemi, ne bamuziika mu ntaana ye ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. 29 (K)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Yolaamu mutabani wa Akabu, Akaziya n’atandika okufuga Yuda.
Okufa kwa Yezeberi
30 (L)Yeeku n’agenda Yezeberi gye yali, Yezeberi n’akimanya, n’asiiga amaaso ge, n’alongoosa enviiri ze, n’atunula ebweru ng’asinziira mu ddirisa. 31 (M)Awo Yeeku bwe yali ng’ayingirira mu wankaaki, Yezeberi n’amubuuza nti, “Ojja mirembe, ggwe Zimuli, eyatemula mukama wo?”
32 Yeeku n’ayimusa amaaso ge waggulu, n’akoowoola ng’abuuza nti, “Ani ali ku ludda lwange? Ani?” Abalaawe babiri oba basatu ne balingiza mu ddirisa. 33 (N)N’ayogera nti, “Mumusuule wansi!” Ne bamusuula wansi, n’omusaayi gwe ogumu ne gumansukira ekisenge ne ku mbalaasi, n’okumulinyirira ne zimulinnyirira.
34 (O)Awo Yeeku n’ayingira, n’alya era n’anywa. N’ayogera nti, “Mulabirire omulambo gw’omukazi oyo eyakolimirwa, era mulabe nga guziikibwa kubanga yali mumbejja.” 35 Naye bwe bagutuukako, tebaalina kye basangawo okuggyako akawanga ke, n’ebigere bye, n’ebibatu by’emikono gye. 36 (P)Ne baddayo eri Yeeku ne bamutegeeza. N’abagamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama, kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng’agamba nti, ‘Mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, embwa mwe ziririira omulambo gwa Yezeberi. 37 (Q)Era omulambo gwa Yezeberi guliba ng’obusa ku ttale mu kibangirizi ky’e Yezuleeri, omuntu yenna aleme okugamba nti, Ono ye Yezeberi.’ ”
Obufumbo
7 (A)Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. 2 Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba. 3 (B)Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. 4 Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza. 5 (C)Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe. 6 (D)Naye kino nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya so si mu ngeri ya kuwa kiragiro. 7 (E)Nandyagadde buli omu abeere nga nze; naye buli muntu alina ekirabo ekikye ku bubwe ekiva eri Katonda, omu mu ngeri emu n’omulala mu ngeri endala.
8 (F)Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi. 9 (G)Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.
7 (A)Era bwe musabanga temuddiŋŋananga mu bigambo oba okwogera ebigambo enkumu ng’abatamanyi Katonda bwe bakola nga balowooza nti Bwe banaddiŋŋana mu bigambo emirundi n’emirundi okusaba kwabwe lwe kunaddibwamu. 8 (B)Kale temubafaanananga, kubanga Kitammwe amanyidde ddala byonna bye mwetaaga ne bwe muba nga temunnamusaba.”
9 Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,
Kitaffe ali mu ggulu,
Erinnya Lyo litukuzibwe.
10 (C)Obwakabaka bwo bujje.
By’oyagala bikolebwe mu nsi,
nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11 (D)Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.
12 (E)Tusonyiwe ebyonoono byaffe
nga naffe bwe tusonyiwa abatwonoona.
13 (F)Totuganya kukemebwa
naye tulokole eri omubi.[a]
14 (G)“Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga. 15 (H)Naye bwe mutaasonyiwenga bannammwe, nammwe Kitammwe ali mu ggulu taabasonyiwenga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.