Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:145-176

ק Koofu

145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
    Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
    nkwate ebiragiro byo.
147 (A)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (B)Seebaka ekiro kyonna
    nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
    ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
    kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (C)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
    era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (D)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
    nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153 (E)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
    kubanga seerabira mateeka go.
154 (F)Ompolereze, onnunule,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (G)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
    kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (H)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (I)Abalabe abanjigganya bangi,
    naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (J)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
    kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
    Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
    n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161 (K)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
    naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (L)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
    ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
    naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
    olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (M)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
    tewali kisobola kubeesittaza.
166 (N)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
    mbyagala nnyo nnyini.
168 (O)Buli kye nkola okimanyi,
    era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169 (P)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
    ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (Q)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
    onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (R)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
    kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
    kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (S)Omukono gwo gumbeerenga,
    kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (T)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (U)Ompe obulamu nkutenderezenga,
    era amateeka go gampanirirenga.
176 (V)Ndi ng’endiga ebuze.
    Onoonye omuddu wo,
    kubanga seerabidde mateeka go.

Zabbuli 128-130

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (A)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(B)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(C)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(D)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (E)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

129 (F)Isirayiri ayogere nti,
    “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
(G)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
    naye tebampangudde.
Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
    era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
(H)kyokka Mukama mutuukirivu;
    amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

(I)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
    era bazzibweyo emabega nga baswadde.
(J)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
    oguwotoka nga tegunnakula.
Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
(K)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
    “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
    Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Oluyimba nga balinnya amadaala.

130 (L)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
    (M)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
    eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

(N)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
    ani eyandiyimiridde mu maaso go?
(O)Naye osonyiwa;
    noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

(P)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
    era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
(Q)Emmeeme yange erindirira Mukama;
    mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
    okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

(R)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
    kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
    era y’alina okununula okutuukiridde.
(S)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
    mu byonoono bye byonna.

2 Samwiri 18:19-23

Dawudi Akungubagira Abusaalomu

19 (A)Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.” 20 Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”

21 Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka. 22 Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?” 23 N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.”

Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.

Ebikolwa by’Abatume 23:23-35

Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya

23 (A)Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 24 (B)Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”

25 Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:

26 (C)Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.

27 (D)Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. 28 (E)Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. 29 (F)Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. 30 (G)Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.

31 Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. 32 (H)Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. 33 (I)Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. 34 (J)Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” 35 (K)Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.

Makko 12:13-27

Okuwa Kayisaali Omusolo

13 (A)Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo n’Abakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo. 14 Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”[a]

15 Naye Yesu n’ategeera obunnanfuusi bwabwe n’abagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.” 16 Ne bagimuleetera, n’ababuuza nti, “Ekifaananyi kino n’ebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno by’ani?”

Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.”

17 (B)N’abagamba nti, “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali n’ebya Katonda, mubiwenga Katonda!”

Ne bamwewuunya nnyo.

Yesu Abuuzibwa ku by’Okuzuukira

18 (C)Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti, 19 (D)“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana. 20 Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana. 21 Muto w’omufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye n’afa, nga naye tazadde mwana. Muganda w’omufu amuddako n’awasa nnamwandu oyo, naye n’atazaala. 22 Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa. 23 Kale, mu kuzuukira kw’abafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”

24 (E)Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda. 25 (F)Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu. 26 (G)Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’ 27 Katonda si Katonda w’abafu, wabula ow’abalamu. Mukyamye nnyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.