Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.
80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
2 (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
ojje otulokole.
3 (C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
otutunuulize amaaso ag’ekisa,
otulokole.
4 Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
5 (D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
6 (E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
n’abalabe baffe ne batuduulira.
7 Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulokolebwe.
8 (F)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
9 Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (G)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.
12 (H)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (I)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (J)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15 Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
era ggwe weerondera omwana wo.
16 (K)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.
19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
77 (A)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
2 (B)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.
3 (C)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
4 Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
5 (D)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
ne nzijukira emyaka egyayita.
6 Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:
7 (E)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
naataddayo kutulaga kisa kye?
8 (F)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
9 (G)Katonda yeerabidde ekisa kye?
Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”
10 (H)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (I)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (J)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (K)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.
16 (L)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (M)Ebire byayiwa amazzi
ne bivaamu n’okubwatuka,
era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (N)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (O)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
wayita mu mazzi amangi,
naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.
20 (P)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.
Zabbuli ya Asafu.
79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
ne kifuuka entuumo.
2 (B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
3 (C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
okwetooloola Yerusaalemi,
so nga abafudde tewali muntu abaziika.
4 (D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 (E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
6 (F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
obutakoowoola linnya lyo.
7 Kubanga bazikirizza Yakobo,
ne basaanyaawo ensi ye.
8 (G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
tukusaba oyanguwe okutusaasira
kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
9 (H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
okozese omukono gwo ogw’amaanyi
owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.
Gidyoni azikiriza ekyoto kya Baali
25 (A)Ekiro ekyo Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Mmennya ekyoto kwe basinziza Baali, ofuneyo ente eya sseddume ensava eddirira esinga obulungi okuva mu kiraalo kya kitaawo; otemeeteme ekifaananyi ekibajje ekya Asera ekiriraanye ekyoto kya Baali: 26 mu kifo ekyo kungulu ozimbireko Mukama Katonda wo ekyoto mu nzimba entuufu eyalagirwa, oddire ente eyo eya sseddume gy’oggye mu kiraalo kya kitaawo ogiweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa ng’ogyokya n’ebibajjo by’ekifaanannyi kya Asera.”
27 Awo Gidyoni n’atwala kkumi ku baddu be, n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira, naye kino yakikola kiro olw’okutya ab’omu nju ya kitaawe n’abantu abalala ab’omu kibuga. 28 (B)Abantu b’omu kibuga baagenda okugolokoka ku nkya mu makya, nga ekyoto kwe baasinzizanga Baali kimenyeddwamenyeddwa, n’ekifaananyi kya Asera ekyakiri okumpi nga nakyo kitemeddwatemeddwa, n’ente eya ssava ng’eweereddwayo ku kyoto ekiggya. 29 Ne beebuuza nti, “Ani akoze kino?”
Awo bwe babuuliriza, ne bategeezebwa nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi y’akikoze”.
30 Abantu b’omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Ffulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye ekyoto kwetusinziza Baali; ate era n’atemaatema n’ekifaananyi kya Asera ekibadde kikiriraanye.” 31 Yowaasi n’addamu ekibinja ky’abantu abaali bamulumbye nti, “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kuwagira bigendererwa bye? Omuntu yenna ayagala okumulwanirira wa kuttibwa nga obudde tebunakya; obanga ddala Baali ye Katonda, yerwanirire yekka, kubanga ekyoto kye kyamenyeddwamenyeddwa.” 32 (C)Okuva ku olwo Gidyoni ne bamukazaako erya Yerubbaali ekitegeeza nti, “Baali amulwanyise.” Kubanga yamenyaamenya ekyoto kya Baali.
33 (D)Awo Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu b’ebuvanjuba ne beegatta bonna ne basomoka omugga Yoludaani ne basiisira mu kiwonvu ky’e Yezuleeri. 34 (E)Omwoyo wa Mukama Katonda n’akka ku Gidyoni; n’afuuwa ekkondeere ng’ayita ab’essiga lya Abiyezeeri bamugoberere. 35 (F)N’atuma ababaka eri ab’ekika kya Manase nabo bamugoberere. N’atuma n’ababaka abalala eri ab’ekika kya Aseri, n’ekya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bamusisinkane.
Gidyoni asaba Katonda Obukakafu
36 (G)Awo Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Obanga olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza, 37 (H)ka nteeke ebyoya by’endiga mu kifo awakubirwa eŋŋaano; bwe binaatoba omusulo naye ng’ettaka eribyetoolodde lyo kkalu, ne ndyoka nkakasa ddala ng’olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza.” 38 Ddala bwe kityo bwe kyali; kubanga Gidyoni bwe yagolokoka enkeera mu makya ebyoya by’endiga n’abikamulamu omusulo ne muvaamu ekibya kiramba eky’amazzi. 39 (I)Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Nkwegayiridde tonsunguwalira, kankusabe obukakafu omulundi omulala gumu gwokka. Ku luno njagala ebyoya by’endiga bye biba bibeera ebikalu, ettaka eribyetoolodde litobe omusulo.” 40 Ekiro ekyo Katonda n’akola nga Gidyoni bwe yamusaba, ebyoya by’endiga ne biba bikalu, lyo ettaka eribyetoolodde ne litoba omusulo.
37 (A)Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”
38 (B)Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. 39 (C)Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”
40 (D)Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama. 41 Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.
Obulamu bw’Abakkiriza
42 (E)Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. 43 (F)Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume. 44 (G)Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. 45 (H)Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. 46 (I)Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, 47 (J)nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.
Kigambo
1 (A)Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo[a] yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda. 2 (B)Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.
3 (C)Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo. 4 (D)Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. 5 (E)Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.
6 (F)Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma, 7 (G)eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye. 8 Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.
9 (H)Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu. 10 (I)Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera. 11 Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza. 12 (J)Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye. 13 (K)Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda. 14 (L)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.
15 (M)Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ” 16 (N)Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa. 17 (O)Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima. 18 (P)Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.