Book of Common Prayer
ז Zayini
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
ח Esi
57 (F)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 (G)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (H)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 (I)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 (J)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (K)Ntambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 (L)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
ט Teesi
65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (M)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (N)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
onjigirize amateeka go.
69 (O)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (P)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
ndyoke njige amateeka go.
72 (Q)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
49 (A)Muwulire mmwe amawanga gonna,
mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
2 Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
muwulirize ebigambo byange.
3 (B)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
4 (C)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.
5 (D)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
6 (E)abantu abeesiga obugagga bwabwe
beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
7 Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
wadde okwegula okuva eri Katonda.
8 (F)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
tewali n’omu agusobola;
9 (G)alyoke awangaale ennaku zonna
nga tatuuse magombe.
10 (H)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (I)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
baafuna ettaka mu mannya gaabwe.
12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
alifa ng’ensolo bwe zifa.
13 (J)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (K)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
obulungi bwabwe ne bubula,
amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (L)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
tomutyanga,
17 (M)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (N)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (O)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
n’ayingira mu kizikiza ekikutte.
20 (P)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2 (B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3 (C)Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.
4 Aboonoonyi tebaliyiga?
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5 (D)Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
29 (A)Yobu n’ayongera okwogera nti,
30 (A)“Naye kaakano bansekerera;
abantu abansinga obuto,
bakitaabwe be nnandibadde nteeka
wamu n’embwa ezikuuma endiga zange.
2 Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki?
Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe,
Okubonaabona kwa Yobu
16 (A)“Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo,
ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde.
17 Ekiro kifumita amagumba gange
era obulumi bwe nnina tebukoma.
18 Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka,
n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange.
19 (B)Ansuula mu bitosi,
ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu.
20 (C)“Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu;
nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi.
21 (D)Onkyukira n’obusungu;
onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi.
22 (E)Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo,
n’onziza eno n’eri mu muyaga.
23 (F)Mmanyi nga olintuusa mu kufa,
mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna.
24 (G)“Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa
ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe.
25 (H)Saakaabira abo abaali mu buzibu?
Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu?
26 (I)Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja;
bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja.
27 (J)Olubuto lwange lutokota, terusirika;
ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde.
28 (K)Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana;
nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi.
29 (L)Nfuuse muganda w’ebibe,
munne w’ebiwuugulu.
30 (M)Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka;
n’omubiri gwange gwokerera.
31 (N)Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba
n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.”
19 (A)Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde. 20 (B)Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.
Balunabba ne Pawulo badda mu Antiyokiya eky’omu Siriya
21 (C)Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya, 22 (D)ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.” 23 (E)Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza. 24 Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya, 25 bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.
26 (F)Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola. 27 (G)Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza. 28 Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.
Okufa kwa Laazaalo
11 (A)Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. 2 (B)Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. 3 (C)Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”
4 (D)Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.” 5 Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali 6 n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. 7 (E)Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”
8 (F)Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”
9 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. 10 Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”
11 (H)Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”
12 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.” 13 (I)Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14 Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde. 15 Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.”
16 (J)Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo[a] n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.