Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
38 (A)Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
2 (B)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
3 (C)Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
4 (D)Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.
5 (E)Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
6 (F)Nkootakoota era mpweddemu ensa,
ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
7 (G)Omugongo gunnuma nnyo,
ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
8 (H)Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.
9 (I)Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
n’okusinda kwange okuwulira.
10 (J)Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
n’okulaba sikyalaba.
11 (K)Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
ne bannange tebakyansemberera.
12 (L)Abaagala okunzita bantega emitego,
n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.
13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
atasobola kwanukula.
15 (M)Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 (N)Tobakkiriza kunneeyagalirako,
oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.
17 Kubanga nsemberedde okugwa,
era nga nnumwa buli kiseera.
18 (O)Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
nnumirizibwa ekibi kyange.
19 (P)Abalabe bange bangi era ba maanyi;
n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 (Q)Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.
ד Daleeti
25 (A)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (B)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
onjigirize amateeka go.
27 (C)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (D)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (E)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.
ה Eh
33 (F)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
kubanga mwe nsanyukira.
36 (G)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (H)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (I)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (J)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
onkomyewo mu butuukirivu bwo.
ו Waawu
41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (K)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (L)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.
8 (A)Mukama yamalirira okumenya
bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
byonna ne biggweerera.
9 (B)Emiryango gye gisse mu ttaka,
n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.
Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,
eteri mateeka gaabwe agabafuga,
era ne bannabbi be tebakyafuna
kwolesebwa kuva eri Mukama.
10 (C)Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
bakotese emitwe gyabwe.
11 (D)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
12 (E)Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
“Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
mu bifuba bya bannyaabwe.
13 (F)Nnyinza kugamba ki,
era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
okukusanyusa ggwe
Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
kale ani ayinza okukiwonya?
14 (G)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
15 (H)Bonna abayitawo
babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
ekituukiridde,
era essanyu ly’ensi zonna?”
51 (A)Naye leka mbabuulire ekyama: Si ffenna abalifa, naye eŋŋombe ey’enkomerero bw’erivuga ffenna tulifuusibwa 52 (B)mu kaseera katono ng’okutemya kikowe. Kubanga eŋŋombe erivuga, n’abafu balizuukizibwa, nga tebakyaddayo kufa era ffenna tulifuusibwa. 53 (C)Kubanga omubiri guno oguvunda gwa kufuuka ogutavunda, era omubiri guno ogufa gwa kufuuka ogutafa. 54 (D)Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”
55 (E)“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”
56 (F)Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 (G)Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58 (H)Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.
Mukama wa Ssabbiiti
12 (A)Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya. 2 (B)Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.”
3 (C)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo? 4 (D)Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya. 5 (E)Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango? 6 (F)Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano. 7 (G)Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango. 8 (H)Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
9 N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe. 10 (I)Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti.[a] Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire.
11 (J)Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 12 (K)Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.”
13 Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo! 14 (L)Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.