Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:1-24

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

ב Bessi

(D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
    Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
    tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
    ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
    onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
    amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
    ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
    ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
    era siigeerabirenga.

ג Gimero

17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
    ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
    eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
    tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
    eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
    abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
    kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
    naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
    era ge gannuŋŋamya.

Zabbuli 12-14

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
    Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
(I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
    n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
    Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

(J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
    onzizeemu amaanyi nneme okufa.
(K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
    abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

(L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
(M)Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga ankoledde ebirungi.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

14 (N)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
    bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.

(O)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
    ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
    era abanoonya Katonda.
(P)Naye bonna bakyamye
    boonoonese;
teri akola kirungi,
    era teri n’omu.

(Q)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
    Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Mukama.
Balitya nnyo!
    Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
(R)Mulemesa entegeka z’omwavu,
    songa Mukama kye kiddukiro kye.

(S)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
    Mukama bw’alirokola abantu be,
    Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.

Yeremiya 37:3-21

(A)Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”

(B)Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bw’ayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera. (C)Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.

Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti, (D)“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri. (E)Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’

(F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka. 10 Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”

11 (G)Awo eggye ly’Abakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo, 12 (H)Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo. 13 Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”

14 (I)Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu. 15 (J)Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.

16 Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kkomera mwe yamala ebbanga eddene. 17 (K)Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.”

18 (L)Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera? 19 Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno? 20 Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’ ”

21 (M)Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.

1 Abakkolinso 14:13-25

13 Kale buli ayogera mu lulimi asabe Katonda amusobozese okuluvvuunula. 14 Kubanga bwe nsaba Katonda mu lulimi lwe sitegeera, omwoyo gwange gusaba, naye sibaako kye nganyulwa. 15 (A)Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda n’omwoyo gwange awamu n’amagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu n’amagezi gange. 16 (B)Kubanga bw’otendereza Katonda mu mwoyo gwo, omuntu atategeera ky’ogamba ayinza atya okuddamu nti, “Amiina!” ng’omaliriza okwebaza, ng’ebigambo ebyebazizza tabitegedde? 17 Weewaawo oyinza okuba nga weebazizza Katonda, naye omulala nga tagasibbwa.

18 Neebaza Katonda kubanga njogera ennimi okubasinga mwenna. 19 Naye mu lukuŋŋaana njagala njogere n’amagezi gange ebigambo bitaano abalala bye bategeera nga mbayigiriza, okusinga okwogera ebigambo omutwalo mu nnimi, bye bataategeere.

20 (C)Abooluganda, temulowooza bya kito. Mube ng’abaana abato ku bikwata ku kukola ebibi, mube bakulu mu kulowooza kwammwe. 21 (D)Era kyawandiikibwa mu mateeka nti,

“Ndyogera n’abantu bano
    mu nnimi endala,
n’emimwa egy’abalala,
    naye era tebalimpulira,
    bw’ayogera Mukama.”

22 (E)Noolwekyo ennimi kyeziva ziba akabonero, si eri abo abakkiriza naye eri abo abatali bakkiriza, naye okutegeeza obunnabbi kw’abo abakkiriza so si abo abatali bakkiriza. 23 (F)Kale singa Ekkanisa ekuŋŋaana bonna ne boogera mu nnimi abatamanyi oba abatali bakkiriza ne bayingira, tebagamba nti mulaluse? 24 Naye singa bonna boogera eby’obunnabbi, atali mukkiriza oba atamanyi n’ayingira, ebyo ebyogerebwa byonna, bijja kumuleetera okulumirizibwa olw’ebibi bye, yeesalire omusango, 25 (G)ebyama by’omu mutima gwe bibikkulwe, alyoke afukamire asinze Katonda, nga bw’agamba nti, “Ddala Katonda ali mu mmwe.”

Matayo 10:24-33

24 (A)“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 25 (B)Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.

26 (C)“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 (D)Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 (E)Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 (F)Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.

32 (G)“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33 (H)Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.