Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 93

93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
    Mukama ayambadde ekitiibwa
    era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
    Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

(C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
    ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
    n’amazzi g’ennyanja gayira.
(D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
    oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

(E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
    n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
    ennaku zonna.

Zabbuli 96

96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
    muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
(B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
    mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
    eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

(C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
(D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
    naye Mukama ye yakola eggulu.
(E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
    amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

(F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
(G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
    muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
(H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
    Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
    Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
    Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
    ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12     (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13     (L)Kubanga Mukama ajja;
    ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
    n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Zabbuli 34

Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.

34 (A)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
    akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
(B)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
    ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
(C)Kale tutendereze Mukama,
    ffenna tugulumizenga erinnya lye.

(D)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
    n’ammalamu okutya kwonna.
(E)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
    era tebaaswalenga.
Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
    n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
(F)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
    n’abawonya.

(G)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
    Balina omukisa abaddukira gy’ali.
(H)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
    kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (I)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
    naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (J)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
    mbayigirize okutya Mukama.
12 (K)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
    okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (L)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
    n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (M)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
    noonya emirembe era ogigobererenga.

15 (N)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
    n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (O)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
    okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

17 (P)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
    n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (Q)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

19 (R)Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,
    naye byonna Mukama abimuyisaamu.
20 (S)Amagumba ge gonna Mukama agakuuma,
    ne watabaawo na limu limenyeka.

21 (T)Ekibi kiritta abakola ebibi,
    n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
22 (U)Mukama anunula abaweereza be;
    so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.

2 Bassekabaka 4:8-37

Mutabani w’Omusunammu Azuukizibwa

(A)Awo olwatuuka Erisa n’agenda e Sunemu. Mu Sunemu mwalimu omukazi nnaggagga, eyamwegayirira alye ku mmere ey’omu nnyumba ye. Awo olwatuuka, buli lwe yayitangawo, n’akyamira eyo okulya ku mmere. Omukazi n’agamba bba nti, “Laba kimbikkuliddwa nti oyo musajja wa Katonda, atera okuyitira wano. 10 (B)Kale nno katumutegekere ekisenge waggulu, tumuteekereyo ekitanda n’emmeeza, n’entebe, n’ettabaaza by’anaakozesanga ng’azze okutukyalira.”

11 Lumu, Erisa n’akyalayo, n’agenda mu kisenge kye, n’awummulirako eyo. 12 (C)N’agamba omuweereza we Gekazi nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita, n’ajja n’ayimirira mu maaso ge. 13 Erisa n’agamba Gekazi nti, “Mugambe nti, ‘Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kyewandyagadde kikukolerwe? Wandyagadde tukwogerere eri Kabaka oba ew’omuduumizi w’eggye ku nsonga yonna?’ ”

N’amuddamu nti, “Mbeera mu bantu bange.”

14 Erisa n’abuuza Gekazi nti, “Kiki ekiba kimukolerwa?” Gekazi n’addamu nti, “Laba talina mwana, ate ng’akaddiye.” 15 Erisa n’amugamba nti, “Muyite.” Bwe yamuyita, n’ajja n’ayimirira mu mulyango. 16 (D)Erisa n’amugamba nti, “Omwaka ogujja, mu biro ng’ebya kaakano oliwambaatira omwana owoobulenzi.”

Omukyala n’amuddamu nti, “Nedda mukama wange, tolimba muweereza wo, ayi omusajja wa Katonda.”

17 Naye oluvannyuma omukazi n’aba olubuto, era omwaka ogwaddirira mu biro bye bimu, n’azaala omwana wabulenzi, nga Erisa bwe yali amugambye.

18 (E)Omwana n’akula, naye olunaku lumu n’addukira ewa kitaawe eyali mu nnimiro n’abakunguzi. 19 N’amutegeeza nti, “Omutwe gunnuma, omutwe gunnuma!”

Kitaawe n’agamba omu ku baddu be nti, “Mutwalire maama we.”

20 Awo omuddu n’amusitula n’amutwala eri nnyina, omwana n’atuula ku mubiri gwa nnyina okutuusa essaawa ey’omu ttuntu n’oluvannyuma n’afa. 21 (F)Nnyina n’asitula omulambo gwe, n’agutwala waggulu n’aguteeka ku kitanda eky’omusajja wa Katonda, n’afuluma, n’aggalawo oluggi.

22 N’atumira bba ng’agamba nti, “Mpayo omuddu omu n’endogoyi emu ŋŋende mangu ew’omusajja wa Katonda, nkomewo.”

23 (G)N’amubuuza nti, “Kiki ekikutwala gy’ali leero? Si lunaku lwa mwezi ogwakaboneka wadde olwa Ssabbiiti.” Omukazi n’amuddamu nti, “Teweeraliikirira, kiri bulungi.” 24 Ne yeebagala endogoyi, n’agamba omuddu we nti, “Ggwe kulemberamu, totta ku bigere wabula nga nkugambye.” 25 (H)Ne basitula, n’agenda eri omusajja wa Katonda ku Lusozi Kalumeeri[a]. Omusajja wa Katonda bwe yamuleengera ng’akyali walako, n’agamba omuddu we Gekazi nti, “Laba, Omusunammu wuuli! 26 Dduka omusisinkane omubuuze nti, ‘Oli bulungi ne balo ali bulungi? Ate omwana?’ ”

Omukazi n’amuddamu nti, “Kiri bulungi.”

27 (I)Bwe yatuuka okumpi n’olusozi awaali omusajja wa Katonda, n’agwa wansi ne yeenyweza ku bigere by’omusajja wa Katonda. Amangwago Gekazi n’ajja ng’ayagala okumugobawo, naye omusajja wa Katonda n’amugamba nti, “Muleke! Kubanga ali mu nnaku nnyingi nnyo, ate nga Mukama tannambikkulira nsonga, wadde okugintegeeza.” 28 Omukazi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Nakusaba omwana, mukama wange? Saakugamba obutansuubiza ekisukkiridde?” 29 (J)Erisa n’agamba Gekazi nti, “Weesibe ekimyu, okwate omuggo gwange otambule mangu nnyo nga bw’osobola. Bw’onoosisinkana omuntu yenna mu kkubo tomulamusa, ate bw’akulamusa tomwanukula. Ddira omuggo gwange ogugalamize ku kyenyi ky’omwana.” 30 Naye nnyina w’omwana n’agamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu, era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuleka mabega.” Erisa n’asituka n’amugoberera. 31 Gekazi ye n’abakulemberamu, n’agenda n’ateeka omuggo ku kyenyi ky’omulenzi, naye ne wataba kanyego newaakubadde okuddamu. Amangwago Gekazi n’addayo n’asisinkana Erisa, n’amutegeeza nti, “Omwana tagolokose.”

32 (K)Awo Erisa n’atuuka ku nnyumba, n’agenda butereevu mu kisenge gye yasanga omulambo gw’omwana nga gugalamiziddwa ku kitanda kye. 33 (L)N’ayingira ekisenge, ne yeggalirayo, n’atandika okusaba Mukama. 34 (M)N’alinnya waggulu ku kitanda n’agalamira ku mulambo, omumwa ku mumwa, amaaso ku maaso, n’emikono ku mikono eby’omulambo. Mu kiseera ekyo ng’akyagugalamiddeko ne gutandika okubuguumirira. 35 (N)Erisa n’ayimuka, n’atambulatambula mu kisenge, n’oluvannyuma n’addamu n’agalamira ku mulambo. Omulenzi n’ayasimula emirundi musanvu, omulenzi n’azibula amaaso ge.

36 (O)Awo Erisa n’ayita Gekazi n’amugamba nti, “Yita Omusunammu oyo.” N’amuyita. Omusunammu bwe yajja n’amugamba nti, “Situla omwana wo.” 37 Omukazi n’ayingira, n’avuunama ku bigere bya Erisa, n’asitula omwana we n’afuluma.

Ebikolwa by’Abatume 9:10-31

10 (A)Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

11 (B)Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 12 (C)mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”

13 (D)Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 14 (E)Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”

15 (F)Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 16 (G)Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.

17 (H)Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18 Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 19 (I)N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.

20 (J)Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 21 (K)Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 22 (L)Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.

23 Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 24 (M)Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 25 (N)Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.

26 (O)Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 27 (P)Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28 Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 29 (Q)Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 30 (R)Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.

31 (S)Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.

Lukka 3:7-18

(A)Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? (B)Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. (C)Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”

10 (D)Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”

11 (E)Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”

12 (F)Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”

13 (G)Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”

14 (H)Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”

Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”

15 (I)Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 (J)Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 (K)n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.