Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.

Zabbuli 142

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
    neegayirira Mukama ansaasire.
(B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
    ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

(C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
    gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
(D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
    sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

(E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
    nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
    ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

(F)Owulire okukaaba kwange,
    kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
    kubanga bansinza nnyo amaanyi.
(G)Nziggya mu kkomera,
    ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
    ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Zabbuli 141

Zabbuli Ya Dawudi.

141 (A)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
    Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
(B)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
    n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
    era bwe njogera onkomeko.
(C)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
    n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
    wadde okulya ku mmere yaabwe.

(D)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
    muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
    sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
    Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
    olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
(E)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
    n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”

(F)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
    mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
(G)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
    n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (H)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Zabbuli 143

Zabbuli Ya Dawudi.

143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
    era omutuukirivu jjangu ombeere.
(B)Tonsalira musango,
    kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
    anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
(C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
    n’omutima gwange gwennyise.
(D)Nzijukira ennaku ez’edda,
    ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
    ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
(E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
    ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

(F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
    kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
    nneme okufaanana ng’abafu.
(G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
    kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
    kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
(H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
    kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
    antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.

11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
    mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 (K)Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
    ozikirize n’abanjigganya bonna,
    kubanga nze ndi muddu wo.

Ezeekyeri 39:21-29

21 (A)“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako. 22 Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe. 23 (B)N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala. 24 (C)Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange.

25 (D)“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu. 26 (E)Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa. 27 (F)Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi. 28 Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu. 29 (G)Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.”

1 Yokaana 3:1-10

Abaana ba Katonda

(A)Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera. (B)Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. (C)Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.

(D)Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu. (E)Naye mmwe mumanyi nti ye, yalabisibwa alyoke aggyewo ebibi. Era mu ye, temuliimu kibi. (F)Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.

(G)Abaana abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga muntu n’omu; Buli akola eby’obutuukirivu aba mutuukirivu, nga Katonda bw’ali omutuukirivu, (H)naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani. (I)Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda. 10 Ku kino abaana ba Katonda n’aba Setaani kwe bategeererwa. Buli akola ebitali bya butuukirivu si wa Katonda, era na buli atayagala muganda we si wa Katonda.

Matayo 10:24-33

24 (A)“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we. 25 (B)Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.

26 (C)“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa. 27 Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba. 28 (D)Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. 29 Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi. 30 (E)Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa. 31 (F)Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.

32 (G)“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 33 (H)Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.