Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
2 (B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
3 (C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
4 (D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
5 (E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.
Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
6 (F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
7 (G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8 (H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
9 (I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
otwanukule bwe tukukoowoola.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2 (K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3 (L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4 (M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5 (N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6 (O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8 (P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9 (Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.
Zabbuli ya Dawudi.
110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]”
2 (B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
3 (C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
4 (D)Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
116 (A)Mukama mmwagala,
kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
2 (B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
3 (C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
4 (D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
“Ayi Mukama, ndokola.”
5 (E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Katonda waffe ajjudde okusaasira.
6 (F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
7 (G)Wummula ggwe emmeeme yange,
kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
8 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
9 (I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
mu nsi ey’abalamu.
10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
“Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
“Abantu bonna baliraba.”
12 Mukama ndimusasula ntya
olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna.
15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
wakati wo, ggwe Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
117 (R)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
2 (S)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.
Mutendereze Mukama.
Muliraanwa n’Omulabe
15 (A)Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.
16 (B)Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.
18 (C)Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.
19 Okwesiga omuntu ateesigika,
kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.
20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu,
bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.
21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 (D)Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
era Mukama alikuwa empeera.
23 Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.
24 (E)Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.
25 (F)Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.
26 Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.
27 (G)Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.
28 Omuntu ateefuga
ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.
Okulamusa
1 (A)Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni; 2 (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
Okwebaza n’okusaba Katonda
3 (C)Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4 (D)era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. 5 (E)Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. 6 (F)Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. 7 (G)Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. 8 Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. 9 (H)Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 10 (I)mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 11 (J)nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.
Yesu Akwatibwa
18 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.
2 (B)Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be. 3 (C)Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.
4 (D)Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?” 5 Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo. 6 Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi. 7 (E)Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.” 8 Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.” 9 (F)Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”
10 Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko. 11 (G)Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”
12 (H)Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba. 13 (I)Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.[a] 14 (J)Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.