Book of Common Prayer
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
5 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
olowooze ku kunyolwa kwange.
2 (A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
kubanga ggwe gwe nsaba.
3 (B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
ne nnindirira onziremu.
4 (C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 (D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 (E)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
7 (F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
8 (G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9 (H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.
Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
6 (L)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
so tombonereza mu kiruyi kyo.
2 (M)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
3 (N)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
4 (O)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
5 (P)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?
6 (Q)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.
Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
n’omutto ne gutoba.
7 (R)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.
10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?
2 Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
3 (B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
agabula aboomululu n’avuma Mukama.
4 (C)Omubi mu malala ge
tanoonya Katonda.
5 Buli ky’akola kimugendera bulungi.
Amateeka go tagafaako,
era n’abalabe be abanyooma.
6 (D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
nzija kusanyuka emirembe gyonna.”
7 (E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
8 (F)Yeekukuma mu byalo
okutemula abantu abataliiko musango.
Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
9 (G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
era takyaddayo kubiraba.”
12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
n’agamba mu mutima gwe nti
“Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
muyite abyogere ebyo
ebibadde bitajja kuzuulwa.
16 (L)Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
17 (M)Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
otege okutu kwo obaanukule.
18 (N)Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;
omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
11 (O)Mu Mukama mwe neekweka;
ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
“Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 (P)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
egy’obusaale,
balase abalina omutima
omulongoofu.
3 (Q)Emisingi nga gizikirizibwa,
omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 (R)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
era geetegereza abaana b’abantu.
5 (S)Mukama akebera abatuukirivu
naye omutima gwe gukyawa ababi,
n’abakola eby’obukambwe.
6 (T)Ababi alibayiwako
amanda ag’omuliro;
n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 (U)Kubanga Mukama mutuukirivu
era ayagala eby’obutuukirivu;
abo abalongoofu be balimulaba.
16 (A)Okuba n’akatono ng’otya Mukama,
kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.
17 (B)Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana,
kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.
18 (C)Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo,
naye omugumiikiriza akakkanya embeera.
19 (D)Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa,
naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.
20 (E)Omwana omugezi asanyusa kitaawe,
naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
21 (F)Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi,
naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.
22 (G)Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa,
naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.
23 (H)Okuddamu obulungi kisanyusa,
era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.
24 Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,
ne limuziyiza okukka emagombe.
25 (I)Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,
kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
26 (J)Enkwe za muzizo eri Mukama,
naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.
27 (K)Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,
naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.
28 (L)Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,
naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.
29 (M)Mukama ali wala n’aboonoonyi,
naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.
30 Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,
n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.
31 (N)Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,
alituula wamu n’abagezi.
32 (O)Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,
naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.
33 (P)Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.
Omukozi Katonda gw’asiima
14 (A)Ebyo bijjukizenga abantu ng’obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza. 15 (B)Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima. 16 (C)Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda. 17 (D)Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto, 18 (E)abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza. 19 (F)Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”
20 (G)Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa. 21 (H)Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.
22 (I)Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu. 23 Weewalenga empaka ez’obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana. 24 (J)Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza, 25 (K)era aluŋŋamya n’obwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima, 26 (L)ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese by’ayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.
36 (A)Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.
37 (B)Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. 38 (C)Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti,
“Mukama ani akkiriza bye tugamba?
Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”
39 Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,
40 (D)“Katonda yabaziba amaaso,
era n’abakakanyaza emitima,
amaaso gaabwe galeme okulaba,
era n’emitima gyabwe gireme okutegeera,
era gireme okukyuka, mbawonye.”
41 (E)Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.
42 (F)Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 43 (G)Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
44 (H)Awo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma. 45 (I)N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma. 46 (J)Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.
47 (K)“Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango. 48 (L)Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. 49 (M)Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza. 50 Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.