Zekkaliya 10:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Ndibakomyawo okuva mu Misiri,
mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.
Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni
ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
Ezeekyeri 11:19-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 20 (B)Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe.
Read full chapter
Ezeekyeri 36:28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
28 (A)Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe.
Read full chapter
Zekkaliya 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 “Era amawanga mangi galyegatta ku Mukama ku lunaku olwo, era balibeera bantu bange, era nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeera nga Mukama ow’Eggye ye yantuma gy’oli.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.