Add parallel Print Page Options

10 (A)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
    oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
    era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.

Read full chapter

25 (A)Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.

Read full chapter

65 (A)okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi[a] abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200).

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:65 Okugatta ku bayimbi Abaleevi, waabangawo n’abayimbi abalala abaayimbanga mu mbaga ez’enjawulo ne mu nnyimbe

(A)Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi.

Read full chapter

Ennaku ze Tumala ku Nsi

12 (A)Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,
ng’ennaku embi tezinnakutuukako
    n’emyaka nga teginnasembera,
    mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;

Read full chapter

11 (A)Zibasanze abo abakeera enkya ku makya
    banoonye ekitamiiza,
abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,
    okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 (B)Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
    n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
    wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.

Read full chapter

33 (A)Dawudi n’amugamba nti, “Bw’onoogenda nange ojja kunfuukira ekizibu.

Read full chapter