Add parallel Print Page Options

27 (A)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
    baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
    asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”

Read full chapter

(A)Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo kye
    mu maanyi ga Mukama,
    mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we.
Era abantu be tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu
    okutuusa ku nkomerero y’ensi.

Read full chapter

11 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala
    awatali kusaasira,
obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma
    era ne batabusalako.
12 (B)Ndiweereza omuliro ku Temani
    oguliyokya ebigo bya Bozula.”

Read full chapter