Add parallel Print Page Options

16 (A)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
    okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

Read full chapter

(A)Omuntu oyo nnaamulwanyisanga ne mufuula ekyokulabirako era eky’okunyumyako. Ndimusalako ku bantu be, mulyoke mumanye nga nze Mukama.

Read full chapter

18 (A)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
    aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
    alikwatibwa mu mutego.

Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
    N’emisingi gy’ensi gikankana.

Read full chapter

Okuzikirira kwa Isirayiri

(A)Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti,

“Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi,
    emifuubeeto gikankane.
Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna,
    n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala.
Tewaliba n’omu awona.
(B)Ne bwe balisima ne baddukira emagombe,
    omukono gwange gulibaggyayo.
Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu
    ndibawanulayo.
(C)Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri,
    ndibanoonyaayo ne mbaggyayo.
Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja
    ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
(D)Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse,
    era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo.
Ndibasimba amaaso
    ne batuukibwako bibi so si birungi.”

Read full chapter