Add parallel Print Page Options

13 (A)Muyuze emitima gyammwe
    so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
    kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
    n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 (B)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
    n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
    ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

15 (C)Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,
    mulangirire okusiiba okutukuvu.
    Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.

Read full chapter