A A A A A
Bible Book List

Yoswa 5 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri.

Yoswa akomola Abayisirayiri

Mu kiseera ekyo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.” Bw’atyo Yoswa n’akola obwambe mu mayinja amoogi n’akomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi. Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu. Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole. Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya Mukama era kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. Kale mu bifo byabwe Mukama yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo. Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona. Mukama n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano.

Abayisirayiri bakwata Okuyitako e Girugaali

10 Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko. 11 Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike. 12 Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.

Yoswa Asisinkana Omukulu w’Eggye lya Mukama

13 Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti, 14 “Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” 15 Naye omukulu w’eggye lya Mukama n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Joshua 5 New International Version (NIV)

Now when all the Amorite kings west of the Jordan and all the Canaanite kings along the coast heard how the Lord had dried up the Jordan before the Israelites until they[a] had crossed over, their hearts melted in fear and they no longer had the courage to face the Israelites.

Circumcision and Passover at Gilgal

At that time the Lord said to Joshua, “Make flint knives and circumcise the Israelites again.” So Joshua made flint knives and circumcised the Israelites at Gibeath Haaraloth.[b]

Now this is why he did so: All those who came out of Egypt—all the men of military age—died in the wilderness on the way after leaving Egypt. All the people that came out had been circumcised, but all the people born in the wilderness during the journey from Egypt had not. The Israelites had moved about in the wilderness forty years until all the men who were of military age when they left Egypt had died, since they had not obeyed the Lord. For the Lord had sworn to them that they would not see the land he had solemnly promised their ancestors to give us, a land flowing with milk and honey. So he raised up their sons in their place, and these were the ones Joshua circumcised. They were still uncircumcised because they had not been circumcised on the way. And after the whole nation had been circumcised, they remained where they were in camp until they were healed.

Then the Lord said to Joshua, “Today I have rolled away the reproach of Egypt from you.” So the place has been called Gilgal[c] to this day.

10 On the evening of the fourteenth day of the month, while camped at Gilgal on the plains of Jericho, the Israelites celebrated the Passover. 11 The day after the Passover, that very day, they ate some of the produce of the land: unleavened bread and roasted grain. 12 The manna stopped the day after[d] they ate this food from the land; there was no longer any manna for the Israelites, but that year they ate the produce of Canaan.

The Fall of Jericho

13 Now when Joshua was near Jericho, he looked up and saw a man standing in front of him with a drawn sword in his hand. Joshua went up to him and asked, “Are you for us or for our enemies?”

14 “Neither,” he replied, “but as commander of the army of the Lord I have now come.” Then Joshua fell facedown to the ground in reverence, and asked him, “What message does my Lord[e] have for his servant?”

15 The commander of the Lord’s army replied, “Take off your sandals, for the place where you are standing is holy.” And Joshua did so.

Footnotes:

  1. Joshua 5:1 Another textual tradition we
  2. Joshua 5:3 Gibeath Haaraloth means the hill of foreskins.
  3. Joshua 5:9 Gilgal sounds like the Hebrew for roll.
  4. Joshua 5:12 Or the day
  5. Joshua 5:14 Or lord
New International Version (NIV)

Holy Bible, New International Version®, NIV® Copyright ©1973, 1978, 1984, 2011 by Biblica, Inc.® Used by permission. All rights reserved worldwide.

Viewing of
Cross references
Footnotes