A A A A A
Bible Book List

Yobu 18 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Birudaadi Ayanukula

18 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,

“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
    Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
Lwaki tutwalibwa ng’ente
    era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
    abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?

“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
    era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
Ekitangaala kivudde mu weema ye;
    n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
    era enkwe ze, ze zimusuula.
Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
    era n’atangatanga mu butimba.
Omutego gumukwata ekisinziiro;
    akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
    akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 Entiisa emukanga enjuuyi zonna
    era n’emugoba kigere ku kigere.
12 Emitawaana gimwesunga;
    ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 Kirya ebitundu by’olususu lwe;
    omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
    era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
    ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 Emirandira gye gikala wansi,
    n’amatabi ge gakala waggulu.
17 Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
    talina linnya mu nsi.
18 Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
    n’aggyibwa mu nsi.
19 Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
    newaakubadde ekifo mwabeera.
20 Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
    n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
    bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes