Add parallel Print Page Options

18 (A)“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti,
    ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu
    era kaakano nkangavvuddwa.
Nziza, n’akomawo gy’oli
    kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 (B)Nga mmaze okubula,
    neenenya,
nga nzizeemu amagezi agategeera
    ne neekuba mu kifuba.
Nakwatibwa ensonyi era ne nswala,
    kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’

Read full chapter

11 (A)Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.

Read full chapter