Add parallel Print Page Options

Okwemulugunya kwa Yeremiya

Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa,
    wansinza amaanyi n’ompangula.
Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde,
    buli muntu ankudaalira.
(A)Buli lwe njogera,
    ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira.
Kale ekigambo kya Mukama kindeetera
    kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.

Read full chapter

(A)Mukama n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo.

Read full chapter

(A)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
    n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.

Read full chapter

15 (A)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
    olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.

Read full chapter

13 (A)Muyuze emitima gyammwe
    so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
    kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
    n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.

Read full chapter