Add parallel Print Page Options

13 (A)Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?”

Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”

14 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga. 15 (B)Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka
    mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi,
balizinda bbugwe waakyo yenna
    era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.

Read full chapter

(A)Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumba
    lyonoone ensi y’Abakaludaaya.
Tewali muntu alisigalamu;
    abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna.

Read full chapter