Add parallel Print Page Options

(A)“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.

Read full chapter

17 (A)Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze Mukama nkyogedde.”

Read full chapter

27 (A)“Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa n’ekitala, n’abo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, n’abo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli.

Read full chapter

(A)“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga,
    ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga,
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(B)“Ne mbamma enkuba
    ng’ekyabulayo emyezi esatu amakungula gatuuke.
Ne ntonnyesa enkuba mu kibuga ekimu
    ne ngiziyiza mu kirala.
Yatonnyanga mu nnimiro emu,
    mu ndala n’etatonnya, ebirime ne biwotoka.
(C)Abantu ne bavanga mu kibuga ekimu ne balaga mu kirala nga banoonya amazzi banyweko,
    naye ne gababula;
    naye era ne mutakyuka kudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

(D)“Emirundi mingi ebirime byammwe n’ennimiro zammwe ez’emizabbibu na bigengewaza.
    Nabileetako obulwadde.
Enzige nazo ne zirya emitiini gyammwe n’emizeeyituuni gyammwe,
    naye era temwadda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

10 (E)“Nabasindikira kawumpuli
    nga gwe nasindika mu Misiri.
Abavubuka bammwe ne mbattira mu lutalo n’ekitala
    awamu n’embalaasi zammwe ze mwawamba.
Okuwunya kw’olusisira lwammwe ne kuyitirira nnyo
    naye era ne mugaana okudda gye ndi,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi.

Read full chapter