Add parallel Print Page Options

24 (A)Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.

Read full chapter

Ekiragiro ky’okuzimba Eryato

(A)Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye:

Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda.

Read full chapter

Endagaano y’Okukomola

17 (A)Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa.

Read full chapter

15 (A)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,

“Katonda wa jjajjange
    Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
    okutuusa leero,

Read full chapter

(A)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
    Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
    era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

Read full chapter

(A)Amateeka ag’amazima gali mu kamwa ke era nga tewali bulimba busangibwa mu kamwa ke. Yatambula nange mu mirembe ne mu butuukirivu era n’aggya bangi mu kibi.

Read full chapter