Add parallel Print Page Options

53 (A)N’aggyayo eby’obugagga ebya ffeeza ne zaabu, n’ebyambalo n’abiwa Lebbeeka, era n’awa mwannyina ne nnyina ebirabo eby’omuwendo omungi. 54 (B)Awo ye n’abasajja be yali nabo ne balyoka balya era ne banywa; ne basulayo ekiro ekyo.

Bwe baagolokoka enkya n’agamba nti, “Ka nzireyo eri mukama wange.”

55 Mwannyina ne nnyina ne bamuddamu nti, “Leka omuwala abeereko naffe akaseera, wakiri ennaku kkumi, olwo mulyoke mugende.”

Read full chapter