Add parallel Print Page Options

29 (A)Lebbeeka yalina mwannyina, Labbaani, eyayanguwa okulaga ku luzzi eri omusajja, 30 Labbaani bwe yalaba empeta n’ebikomo ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya mwannyina ng’omusajja bw’amugambye, n’agenda eri omusajja. Laba omusajja yali ng’ayimiridde awali eŋŋamira ku luzzi. 31 (B)Labbaani n’amugamba nti, “Jjangu gwe aweereddwa Mukama omukisa. Lwaki obeera eno? Ntegesse ennyumba era n’ekifo ky’eŋŋamira.”

Read full chapter