Add parallel Print Page Options

14 (A)Kale omuwala gwe nnaagamba nti, ‘Nkwegayiridde mpa ku mazzi ag’omu nsuwa yo nnyweko,’ n’amala agamba nti, ‘Kale nnywa, era n’eŋŋamira zo nnaazinywesa,’ oyo y’aba abeera gw’olonze okuba mukazi w’omuddu wo Isaaka. Ku kino kwe nnaategeerera nti olaze mukama wange ekisa kyo ekitaggwaawo.”

Lebbeeka ku Luzzi

15 (B)Laba, bwe yali nga tannamaliriza kusaba, Lebbeeka muwala wa Besweri mutabani wa Mirika muka Nakoli, muganda wa Ibulayimu, n’ajja ng’atadde ensuwa ye ey’amazzi ku kibegabega kye. 16 (C)Omuwala oyo yali mulungi okulabako nga muwala mbeerera, n’akka mu luzzi n’ajjuza ensuwa ye n’avaayo.

Read full chapter