Olubereberye 24:1-3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okunoonyeza Isaaka Omukazi
24 (A)Ibulayimu yawangaala n’akaddiwa nnyo; era Mukama yamuwa emikisa mingi mu byonna. 2 (B)Awo Ibulayimu n’agamba omuddu asinga obukulu mu nnyumba ye, eyali afuga byonna Ibulayimu bye yalina nti, “Teeka omukono gwo wansi w’ekisambi kyange[a] 3 (C)ndyoke nkulayize mu maaso ga Mukama Katonda w’eggulu era Katonda w’ensi, nga toliwasiza mutabani wange mukazi kuva mu bawala ba nsi ya Bakanani, mwe mbeera,
Read full chapterFootnotes
- 24:2 wansi w’ekisambi kyange amakulu nti ekirayiro ekyo kyali kitwaliramu ne bazzukulu ba Ibulayimu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.