Add parallel Print Page Options

23 (A)Awo Ibulayimu n’amusemberera n’agamba nti, “Ddala olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? 24 (B)Singa mu kibuga mulimu abatuukirivu amakumi ataano onookizikiriza n’otokisonyiwa olw’abatuukirivu amakumi ataano abakirimu? 25 (C)Kireme okuba gy’oli okukola ekintu bwe kityo, okutta abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu ne benkana n’ababi! Kireme kuba bwe kityo! Omulamuzi ow’ensi yonna teyandisaanye akole kituufu?”

26 (D)Mukama n’agamba nti, “Bwe nnaasanga mu Sodomu abatuukirivu amakumi ataano mu kibuga omwo nzija kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.”

27 (E)Ibulayimu n’addamu nti, “Laba nnyinziza okwogera ne Mukama, nze ani, nze enfuufu n’evvu! 28 Singa abatuukirivu babulako bataano okuwera amakumi ataano, onoozikiriza ekibuga kubanga kubulako bataano?”

N’amuddamu nti, “Sijja kukizikiriza, bwe nnaasangamu abatuukirivu amakumi ana mu abataano abampulira.”

29 Ate Ibulayimu n’amugamba nti, “Singa musangibwamu amakumi ana.”

Mukama n’amuddamu nti, “Ku lw’amakumi ana sijja kukizikiriza.”

30 Ate n’agamba nti, “Kale nno Mukama aleme okunsunguwalira, nange nnaayogera. Singa musangibwamu amakumi asatu.”

N’addamu nti, “Sijja kukizikiriza singa musangibwamu amakumi asatu.”

31 N’agamba nti, “Laba ŋŋumye ne njogera ne Mukama. Singa musangibwamu amakumi abiri.”

N’agamba nti, “Ku lw’amakumi abiri sijja kukizikiriza.”

32 (F)Ate n’agamba nti, “Kale Mukama aleme okukwatibwa obusungu, nnaayongera okwogera, naye luno lwokka. Singa kkumi lye linaasangibwamu.”

N’addamu nti, “Ku lw’abo ekkumi sijja kukizikiriza.”

Read full chapter

15 (A)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
    n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.

Read full chapter

16 (A)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
    okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

Read full chapter

18 (A)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
    Mukama teyandimpulirizza;

Read full chapter

19 (A)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.

Read full chapter

20 (A)Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

Read full chapter

29 (A)Mukama ali wala n’aboonoonyi,
    naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.

Read full chapter

15 (A)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

Read full chapter

Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa

59 (A)Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,
    era si muzibe wa matu nti tawulira.

Read full chapter

(A)Naye obutali butuukirivu bwammwe
    bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
    n’atawulira.

Read full chapter

(A)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.

Read full chapter

16 (A)Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

17 (B)Eriya yali muntu ddala nga ffe, naye bwe yeewaayo n’asaba enkuba ereme okutonnya, enkuba teyatonnya okumalira ddala emyaka esatu n’ekitundu! 18 (C)Ate n’asaba enkuba n’etonnya, omuddo n’ebisimbe byonna ne biddamu okumera.

Read full chapter

14 (A)Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.

Read full chapter

15 (A)Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

Read full chapter