Add parallel Print Page Options

(A)Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Mukama Katonda gye yabalagira okukwata.”

Read full chapter

(A)Awo abakadde bonna aba Isirayiri bwe bajja eri kabaka e Kebbulooni, n’akola nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama Katonda, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri[a].

Read full chapter

Footnotes

  1. 5:3 Guno gwali mulundi gwa kusatu Dawudi okufukibwako amafuta, okukakasa nti ye kabaka wa Isirayiri.

12 (A)Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna.

Read full chapter

(A)Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda.

Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.

Read full chapter

10 (A)Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko.

Read full chapter

31 (A)Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.

Read full chapter

(A)Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna n’abaana be twabazaalamu, ng’okuteesa kwa mukama wange n’abo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ng’etteeka bwe litulagira.

Read full chapter

(A)Awo kabaka n’ayimirira okuliraana empagi n’azza obuggya endagaano ne Mukama, okutambuliranga mu kkubo lya Mukama, n’okukwatanga amateeka ge, n’okutambuliranga mu mpya ze, n’okugonderanga ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, ng’akakasa ebyawandiikibwa ebyali mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne beewaayo okuzza endagaano obuggya.

Read full chapter

Eddembe ly’Abaddu

(A)Kino kye kigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kabaka Zeddekiya amaze okukola endagaano n’abantu bonna mu Yerusaalemi okulangirira nti abaddu baweereddwa eddembe.

Read full chapter