Add parallel Print Page Options

18 (A)Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo.

Read full chapter

(A)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!

Read full chapter

(A)Mukama, bwe wava e Seyiri,
    bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala,
ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu.
    Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.

Read full chapter

(A)Katonda yajja ng’ava e Temani,
    Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
    ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.

Read full chapter

10 (A)Omugga gw’omuliro nga gukulukuta,
    nga gukulukutira awo mu maaso ge.
Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga,
    n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge.
Okuwozesa emisango ne kutandika,
    ebitabo ne bibikkulwa.

Read full chapter

53 (A)Mmwe mwaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika naye ne mutagagondera.”

Read full chapter

11 (A)Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali.

Read full chapter