Add parallel Print Page Options

11 (A)Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe[a], nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

Read full chapter

Footnotes

  1. 12:11 Engatto tezaayambalibwanga waka, era n’enkoba tezaasibwanga. Omuntu bwe yabiteekangako nga kitegeeza nga bw’asuubira okugenda.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

12 (A)Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”

13 N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14 Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 15 (B)Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16 Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.

Read full chapter